Lukka 15

15
Endiga eyabula
(Mat 18:12-14)
1Awo abawooza bonna n'abalina ebibi baali nga bamusemberera okumuwuliriza. 2Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti, “ Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.”#Luk 5:30
3Awo Yesu n'abagerera olugero luno, ng'agamba nti, 4#Mat 18:12-14“Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi (100), bw'abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda (99) ku ttale, n'agenda okunoonya eri eyabuze, okutuusa lw'aligiraba?#Ez 34:11,16, Luk 19:10 5Kale bw'agiraba, agissa ku kibegabega kye ng'asanyuka. 6Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze. 7Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda (99), abateetaaga kwenenya.”
Erupiya eyabula
8 “Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi (10), bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttaala n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula? 9Bw'agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n'agamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze. 10Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya.”#Bef 3:10
Omwana eyazaawa
11N'agamba nti, “Waaliwo omuntu eyalina batabani be babiri: 12omuto n'agamba kitaawe nti, Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabanyiza ebintu eby'obulamu bwe. 13Awo oluvannyuma lw'ennaku si nnyingi, omwana oyo omuto n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'atambula n'agenda mu nsi ey'ewala; n'asaasaanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi.#Nge 29:3 14Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaagana. 15N'agenda ne yeegatta n'omwami ow'omu nsi eyo; omwami oyo n'amusindika mu kyalo kye okulundanga embizzi. 16Ne yeegombanga okukkuta ebikuta embizzi bye zaalyanga: ne watabaawo muntu amuwa.#Nge 23:31 17Naye bwe yeddamu, n'agamba nti, Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala! 18N'agolokoka ne ŋŋenda eri kitange, mmugambe nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go;#Yer 3:12, Zab 51:4 19sikyasaana kuyitibwa mwana wo; nfuula ng'omu ku baweereza bo ab'empeera. 20N'agolokoka n'agenda eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo. 21Oyo omwana n'amugamba nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo. 22Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti, Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye: 23muleete n'ennyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke; 24kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka.”#Bef 2:1,5; 5:14
25 “Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina. 26N'ayita omu ku baddu, n'amubuuza ebyo bwe bibadde. 27N'amugamba nti, Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu. 28Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.#Luk 15:2 29Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti, Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga wadde na kabuzi nsanyukeko ne mikwano gyange; 30naye omwana wo oyo, eyalya ebintu eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava. 31Kitaawe n'amugamba nti, Mwana wange, ggwe bulijjo ng'oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo.#Yok 17:10 32Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.”

Айни замон обунашуда:

Lukka 15: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy