Lukka 14

14
Yesu awonya omulwadde w'entumbi
1Awo olwatuuka Yesu bwe yayingira ku ssabbiiti mu nnyumba y'omukulu w'Abafalisaayo omu okulya emmere ne bamulabiriza.#Luk 6:6-11; 11:37 2Era, laba, waaliwo omuntu mu maaso ge, eyali alwadde entumbi. 3Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti, “ Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?” 4Naye ne basirika. N'amukwatako n'amuwonya, n'amusiibula. 5N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku lunaku lwa Ssabbiiti?”#Luk 13:15, Mat 12:11 6Ne batayinza kumuddamu ekyo.
Obwetoowaze
7Yesu bwe yalaba abo abaayitibwa ku mbaga engeri gye beeroboza ebifo eby'oku mwanjo; n'abagerera olugero n'abagamba nti, #Mat 23:6 8“Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku mwanjo, mpozzi waleme okubaawo omulala akusinga ekitiibwa gw'ayise,#Nge 25:6 9n'oli eyabayise mwembi n'ajja, n'akugamba nti Segulira ono mu kifo; n'olyoka ogenda okutuula mu kifo eky'emabega ng'oswadde. 10Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyise bw'ajja, akugambe nti Mukwano gwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere. 11Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”#Luk 18:14, Mat 23:12
Okutegeka embaga
12Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti, “ Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; si kulwa nga nabo bakuyita, ne wabaawo okukusasula. 13Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso, 14era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: Katonda alikusasulira mu kuzuukira kw'abatuukirivu.”#Yok 5:29
Olugero lw'embaga ennene
(Mat 22:1-10)
15Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti, “ Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda.”#Luk 13:29 16Naye Yesu n'amugamba nti, “ Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene; n'ayita bangi:#Mat 22:2-10 17n'atuma omuddu we obudde obw'embaga nga butuuse okugamba bali abayitiddwa, nti Mujje; kubanga bimaze okutegekebwa. 18Bonna n'emmeeme emu ne batandika okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti, ‘Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa.’ 19N'omulala n'agamba nti, ‘Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzigezesa, nkwegayiridde nsonyiwa.’ 20N'omulala n'agamba nti, ‘Mpasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’#1 Kol 7:33 21Awo omuddu oyo n'addayo n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti, ‘Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera.’ 22Omuddu n'agamba nti, ‘ Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebifo.’ 23Mukama we n'agamba omuddu nti, ‘Fuluma ogende mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.’ 24Kubanga mbagamba nti, ‘Bali abaayitibwa, tewali n'omu alirya ku mbaga yange.’”
Omuwendo gw'okubeera omuyigirizwa
(Mat 10:37-38)
25Awo ebibiina binene byali bigenda ne Yesu; n'akyuka n'abagamba nti, 26“Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.#Ma 33:9,10, Luk 18:29,30, Yok 12:25 27#Mat 10:37,38 Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'angoberera, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.#Luk 9:23 28Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? 29Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi n'atasobola kugimaliriza, bonna abalaba batandika okumusekerera, 30nga bagamba nti Omuntu ono yatandika okuzimba n'atasobola kumaliriza. 31Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasooka kutuula n'ateesa, oba ng'ayinza n'abantu omutwalo ogumu (10,000), okwaŋŋanga oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri (20,000)? 32Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana. 33Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.”
Omunnyo oguweddemu ensa
(Mat 5:13, Mak 9:50)
34 “Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? # Mat 5:13, Mak 9:50 35Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”

Айни замон обунашуда:

Lukka 14: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy