1
Lukka 14:26
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
“Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Муқоиса
Lukka 14:26 омӯзед
2
Lukka 14:27
Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'angoberera, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Lukka 14:27 омӯзед
3
Lukka 14:11
Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
Lukka 14:11 омӯзед
4
Lukka 14:33
Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.”
Lukka 14:33 омӯзед
5
Lukka 14:28-30
Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi n'atasobola kugimaliriza, bonna abalaba batandika okumusekerera, nga bagamba nti Omuntu ono yatandika okuzimba n'atasobola kumaliriza.
Lukka 14:28-30 омӯзед
6
Lukka 14:13-14
Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso, era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: Katonda alikusasulira mu kuzuukira kw'abatuukirivu.”
Lukka 14:13-14 омӯзед
7
Lukka 14:34-35
“Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
Lukka 14:34-35 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео