1
Ebikolwa by'Abatume 20:35
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.’ ”
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Ebikolwa by'Abatume 20:24
Naye obulamu bwange sibutwala kuba kintu oba kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey'ekisa kya Katonda.
3
Ebikolwa by'Abatume 20:28
Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini.
4
Ebikolwa by'Abatume 20:32
Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abaatukuzibwa.