Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Yeremiya 47

47
Obubaka bwa Mukama obukwata ku Bafirisuuti
1Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi, ekikwata ku Bafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza.#Ez 25:15,16, Am 1:6,7, Zef 2:4,5
2Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Laba, amazzi gatumbiira agava obukiikakkono, era galifuuka mugga ogwanjaala, era galyanjaala ku nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu; n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi balikungubaga.#Is 8:7 3Olw'omusinde gw'ebinuulo by'embalaasi, n'okuwulukuka kw'amagaali ge, n'okuvuuma kwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebaava balema okutunula emabega eri abaana baabwe, olw'okuba emikono gyabwe gifuuse minafu;#Yer 46:5, Nak 3:2 4olw'olunaku olujja okuzikiriza Abafirisuuti, n'okusala ku Ttuulo ne Sidoni buli muyambi asigaddewo; kubanga Mukama alizikiriza Abafirisuuti, abasigaddewo ku kizinga Kafutooli.#Yo 3:4, Am 1:8; 9:7 5Abantu be Gaza bamweddeko enviiri zaabwe olw'okukungubaga; Asukulooni amaliddwawo. Mmwe ekitundu ekifisseewo ab'omu kiwonvu mulituusa wa okwesala?#Yer 48:37 6Ayi ggwe ekitala kya Mukama! Olituusa wa obutatereera? Ddayo mu kiraato kyo, wummula osirike.#Ma 32:41 7Naye kinaawummula kitya nga Mukama akiragidde okukola! Okulumba Asukulooni era n'olubalama lw'ennyanja.”#Ez 14:17, Mi 6:9

Atualmente Selecionado:

Yeremiya 47: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login