Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Yeremiya 48

48
Okuzikirizibwa kwa Mowaabu
1Ebikwata ku Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Zisanze Nebo! Kubanga kizikiriziddwa; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa; ekigo kyakyo kikwasibbwa ensonyi, era kisuliddwa.#Is 15:1—16:4, Yer 25:21 2Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo. Mu Kesuboni mwe bakiteesereza obubi, ‘Mujje tukimalewo kireme okuba eggwanga!’ Era naawe Madumeni, ayi olisirisibwa; ekitala kirikucocca. 3Wulira! okukaaba okuva e Kolonayimu, ‘Okunyaga n'okuzikiriza okunene!’ 4Mowaabu azikiridde; okukaaba kuwuliddwa okutuukira ddala e Zowaali. 5Kubanga awayambukirwa e Lukisi, bagenda nga bakaaba amaziga; kuba awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde okukaaba okw'okuzikirira. 6Mudduke! muwonye obulamu bwammwe, mufaanane ng'endogoyi ey'omunsiko mu ddungu.#Yer 17:6 7Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, ogenda kutwalibwa; ne Kemosi alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be.#Kubal 21:29, 1 Bassek 11:7, Is 46:2, Yer 49:3,4 8Omuzikiriza alituuka mu buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era ekiwonvu kirisanyizibwawo n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera.#Yos 13:9,17,21 9Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke agende; ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali atuulamu. 10Akolimiddwa oyo akola omulimu gwa Mukama ng'atenguwa, era akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.#1 Sam 15:3,9, 1 Bassek 20:42, 1 Kol 15:58 11Mowaabu bulijjo abadde mu mirembe, tebatwalibwangako mu busibe. Balinga omwenge gwe batasengezze ebbonda lyagwo, nga teguttululwa kuva mu kita okudda mu kirala, obuwoomi bwagwo ne butayonooneka n'akatono, n'akawoowo kagwo, ne kasigala nga kalungi.#Zef 1:12 12Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe nditumira abo abattulula, kale balimuttulula, era balimalamu ebintu bye, ne bamenyamenya ensuwa ze. 13Kale Mowaabu alikwatirwa Kemosi ensonyi, ng'ennyumba ya Isiraeri bwe baakwatirwa Beseri ensonyi, gwe baali beesiga.”#1 Bassek 12:29, Is 16:14, Kos 10:6 14Mwogera mutya nti, “Tuli basajja ba maanyi era abazira mu kulwana? 15Omuzikiriza wa Mowaabu n'ebibuga bye, azze, era n'abalenzi be abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.#Yer 46:18 16Obuyinike bwa Mowaabu bunaatera okutuuka, n'ennaku ze zanguwa mangu. 17Mumukungubagire mmwe mwenna abamwetoolodde, nammwe mwenna abamanyi erinnya lye; mwogere nti, ‘Omuggo ogw'amaanyi nga gumenyese, oluga olulungi!’#Is 9:4 18Serengeta ove mu kitiibwa kyo, era otuule mu nfuufu gwe atuula mu Diboni! Kubanga omuzikiriza wa Mowaabu atuuse, azikirizza ebigo byo eby'amaanyi.#Is 47:1 19Yimirira ku mabbali g'ekkubo okette, gwe abeera mu Aloweri! Buuza omusajja adduka, era n'omukazi awona, oyogere nti, ‘Kiki ekiguddewo?’#1 Sam 4:13,16 20Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese; wowoggana okaabe! Mukibuulire mu Alunoni, nti, Mowaabu ezikiriziddwa. 21Omusango gumaze okusalirwa ebibuga by'omu museetwe: Koloni, Yaza, ne Mefaasi; 22Diboni, Nebo ne Besudibulasayimu; 23Kiriyasayimu, Besugamuli ne Besumyoni; 24Keriyoosi ne Bozula ne bibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n'ebiri okumpi.#Am 2:2 25Amaanyi ga Mowaabu gamenyese, obuyinza bwayo buzikiridde, bw'ayogera Mukama.”#Zab 75:10, Ez 30:21
Mowaabu alitoowazibwa
26“Mutamiize; kubanga yeegulumiriza ku Mukama; olwo Mowaabu alyoke yekulukuunye mu bisesemye bye, era naye alisekererwa.#Yer 25:27 27Isiraeri teyali wa kusekererwa gyoli? Yaasangibwa babbi? Era nga buli lw'omwogerako omunyenyeza omutwe?”#Zab 64:8, Kung 2:15, Ez 25:8, Zef 2:8, Mat 27:39 28Muve mu bibuga, mutuule mu mayinja; mmwe abatuula mu Mowaabu! mufaanane kaamukuukulu akola ekisu kye mu njatika z'amayinja.#Zab 55:6,7 29Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe. 30Mmanyi obusungu bwe, bw'ayogera Mukama, okwenyumiririza kwe kwa bwereere; ebikolwa bye temuli nsa. 31Kyennaava nkungubagira Mowaabu; weewaawo n'akabira Mowaabu yenna, era abasajja ab'e Kirukeresi mbakabira.#2 Bassek 3:25 32Okusinga ne Yazeri, nkukaabira gwe omuzabbibu ogw'e Sibuma! Amatabi go gaayita ku nnyanja, ne gaatuukira ddala e Yazeri; naye omuzikiriza agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa byo.#Zab 80:11 33N'essanyu n'okujaguza biggyiddwa ku nnimiro engimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero, tewakyali asogola mwenge, ng'aleekaana; olw'essanyu. 34Ab'e Kesuboni ne Ereyale bakuba ebiwoobe ne biwulirwa okutuuka e Yakazi. Biwulirwa n'ab'e Zowaali era ne mu Kolonayimu, ne mu Egulasuserisiya; kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago gakalidde. 35Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane. 36N'olw'ekyo omutima gwange gukungubagira Mowaabu ng'emirere gy'abasajja ab'e Kirukeresi, bw'ebutyo obugagga bwe bafuna buzikiridde. 37“ Kubanga buli mutwe gumwereddwa era n'abuli kirevu kimwereddwa; ku mikono gyonna kuliko emisale, era ne mu biwato mulimu ebibukutu.#Yer 47:5, Kung 2:10 38Ku ntikko ze nnyumba zonna eza Mowaabu, ne mu nguudo zaayo zonna waliwo okukungubaga; kubanga njasizza Mowaabu ng'ekibya ekitalina akifaako, bw'ayogera Mukama.#Yer 22:28 39Nga kimenyeddwa! Nga bakungubaga! Nga Mowaabu akyusizza enkoona n'ensonyi! Bw'atyo Mowaabu afuuse kusekererwa era ekitiisa eri abo bonna abamwetoolodde.”
Mowaabu terina buwonero
40Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, alibuuka ng'empungu era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu.#Ma 28:49, Is 8:8, Yer 49:22, Ez 17:3 41Ebibuga biritwalibwa n'ebigo biriwambibwa. Omutima gw'abalwanyi ba Mowaabu guliba ku lunaku olwo, ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala. 42Era Mowaabu alizikirizibwa, obutaba ggwanga, kubanga yeegulumiriza ku Mukama.#Is 7:8 43Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe atuula mu Mowaabu! bw'ayogera Mukama.#Is 24:17,18, Kung 3:47 44Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika. Kubanga ndireeta ebintu bino ku Mowaabu mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe, bw'ayogera Mukama. 45Mu kisiikirize kye Kesuboni, abadduka bayimirira nga baweddemu amaanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, n'ennimi z'omuliro zivudde mu nnyumba ya Sikoni, era gwokezza ensonda za Mowaabu, n'engule y'abantu abasobeddwa.#Kubal 24:17 46Zikusanze ggwe, Mowaabu! Abantu ba Kemosi bazikiridde; kubanga batabani bo batwalibbwa nga basibe, ne bawala bo batwalibbwa mu busibe. 47Naye ndikomyawo emikisa gya Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu gukoma wano.#Yer 46:27; 49:39

Atualmente Selecionado:

Yeremiya 48: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login