Mikka 7
7
1 #
Is 24:13, Kos 9:10 Zinsanze! kubanga nfaanana nga lwe bamala okulonda emmere yonna ennungi, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku; tewakyali kirimba eky'okulya; emmeeme yange yeegomba ettiini esooka okwengera. 2#Zab 10:9; 12:1; 14:1,3, Is 9:19Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu: bonna bateega okuyiwa omusaayi, bayigga buli muntu muganda we n'ekitimba. 3#Zab 82:1,2, Mi 3:11, Zef 3:7Engalo zaabwe zikwata ku by'obubi okunyiikira okubikola; omulangira asaba, omulamuzi ayagala okuweebwa empeera; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu mmeeme ye: bwe batyo bwe babirukira awamu. 4#Is 22:5, Ez 2:6; 33:2, Nak 1:10Oyo ku abo asinga obulungi afaanana ng'omweramannyo, omugolokofu ku abo asinga obubi olukomera lw'amaggwa: olunaku olw'abakuumi bo, lwe lw'okulabwako, lutuuse: kaakano we wanaaba okweraliikirira kwabwe. 5#Yer 9:4Temwesiga wa mukwano, temulowoozanga mukulembeze nga mwesigwa; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo. 6#Mat 10:21,35,36Kubanga omwana tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; ab'omu nju be baba abalabe b'omuntu.
7 #
Kung 3:26
Naye ku bwange naatunuuliranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anampuliranga. 8#Zab 37:24; 112:4, Yer 50:11Tonsanyukirako, omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi. 9#1 Sam 24:15, Zab 37:6, Yer 10:19Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango: alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe. 10#Zab 18:42, Yo 2:17, Mi 4:11Kale omulabe wange alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti Mukama Katonda wo ali ludda wa? Amaaso gange galimulabako; kaakano alirinnyirirwa ng'ebitosi eby'omu nguudo. 11#Am 9:11,14Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! ku lunaku luli ekiragiro kiritwalibwa ewala. 12#Is 11:11,16, Zek 9:10Ku lunaku luli baliva mu Bwasuli ne mu bibuga bya Misiri balituuka gy'oli, era baliva mu Misiri okutuuka ne ku Mugga, n'okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi. 13#Mi 6:13Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo ababeera omwo, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe.
14 #
Zab 23:4; 28:9, Yer 50:9, Mi 5:4 Liisa abantu bo n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri: baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda. 15#Zab 78:12Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo. 16#Balam 18:19, Is 26:11Amawanga galiraba, galikwatirwa ensonyi amaanyi gaabwe gonna; baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, amatu gaabwe galiziba. 17#Zab 18:45; 72:9, Is 49:23Balikomba ku nfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva nga bakankana mu bwekwekero bwabwe: balijja eri Mukama Katonda waffe nga batekemuka era balitya ku lulwo. 18#Kuv 34:6,7, Zab 103:9Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okusaasira. 19#Zab 80:14, Is 38:17, Bar 6:14Alikyuka alitusaasira; alisamba okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw'ennyanja. 20#Zab 105:9,10, Luk 1:72,73Olikolera Yakobo amazima, olikolera Ibulayimu ekisa, bye walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.
Obecnie wybrane:
Mikka 7: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.