Logo aplikacji Biblia
Ikona wyszukiwania

Mikka 5

5
1Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba oluyi omulamuzi wa Isiraeri n'omuggo.
2 # Lub 35:19, Zab 90:2, Nge 8:22,23, Is 9:6,7, Kos 6:3, Mat 2:6, Yok 1:1; 7:42, Beb 7:14 Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo. 3#Mi 4:7,9,10Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri. 4#Zab 72:8, Is 11:3-5; 40:11, Mi 7:14, Luk 1:33Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z'ensi. 5Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaffe, bw'alitambula mu mayumba gaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n'abantu munaana ab'ekitiibwa. 6#Lub 10:8,10,11Nabo balyonoona ensi ya Asuli n'ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe. 7Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo. 8#Kos 5:14Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo ez'omu kibira, ng'empologoma ento mu bisibo by'endiga; bw'eyitamu, erinnyirira era etaagulataagula so tewali mulokozi. 9#Is 26:11Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonna bazikirire.
10 # Is 2:7, Zek 9:10 Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go; 11era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; 12#Yer 9:8, Am 3:10era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate; 13era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo. 14#Ma 16:21Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 15#Zab 149:7, 2 Bas 1:8Era ndiwalana eggwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira.

Obecnie wybrane:

Mikka 5: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj