Mikka 3
3
1 #
Yer 5:5
Ne njogera nti Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri; si kwammwe okumanya omusango? 2#Ez 34:3abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; ababaggyako eddiba lyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe; 3#Zab 14:4era abalya omubiri gw'abantu bange; ne bababaagako eddiba lyabwe n'amagumba gaabwe bagamenya; weewaawo, babatiimatiima ng'ebigenda mu kibya, era ng'ennyama ey'omu ntamu. 4#Ma 31:17, Nge 1:28, Is 1:15Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tebaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola obubi mu bikolwa byabwe. 5#Yer 6:14; 23:13Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bannabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amannyo gaabwe, era bayogerera waggulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu bumwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; 6#Ez 12:24, Am 8:9nti Kyekiriva kibeera ekiro gye muli, muleme okwolesebwa; era ekizikiza kiriba gye muli, muleme okulagula; era enjuba erigwira bannabbi, era obudde buliddugala ku bo. 7#Am 8:11, Zek 13:4N'abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kwa Katonda. 8#Is 58:1Naye mazima nze njijudde amaanyi olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, mbuulire Yakobo okwonoona kwe era mbuulire Isiraeri ebibi bye. 9Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga zonna. 10#Yer 22:13, Ez 22:27, Kaab 2:12Bazimba Sayuuni n'omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n'obukyamu. 11#Is 1:23; 48:2, Yer 6:13; 7:4; 23:17, Mi 7:3Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? akabi tekalitutuukako. 12#Yer 26:18Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'omutala ku bwammwe, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n'olusozi olw'ennyumba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.
Obecnie wybrane:
Mikka 3: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.