Matayo 28:12-15
Matayo 28:12-15 LUG68
Ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne babaweera basserikale effeeza nnyingi, ne bagamba nti Mugambanga nti Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase. Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa owessaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango. Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero.

