Amosi 8
8
1Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. 2#Yer 24:1, Kung 4:18, Mi 7:1N'ayogera nti Amosi, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri. 3#Yer 16:4,6, Am 5:23; 6:9,10Awo ennyimba ez'omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise. 4#Zab 14:4Muwulire kino, ai mmwe abaagala okuliira ddala eyeetaaga n'okumalawo abaavu ab'omu nsi, nga mwogera 5#Nek 13:15,16, Ez 45:10, Kos 12:7, Mi 6:10,11nti Omwezi ogwakaboneka guliggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? ne ssabbiiti, tusumulule eŋŋaano? nga mutoniwaza efa, era nga munenewaza sekeri, era nga mulyazaamaanya ne minzaani ez'obulimba; 6#Am 2:6tugule abaavu n'effeeza, n'abeetaaga n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisasiro by'eŋŋaano. 7#Kos 8:13Mukama alayidde obulungi bwa Yakobo nti Mazima seerabirenga bikolwa byabwe na kimu ennaku zonna. 8#Kos 4:3, Zek 10:11Ensi terikankanira ekyo, buli muntu n'awuubaala abeera omwo? weewaawo, eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era eritabanguka n'ekka nate nga Omugga ogw'e Misiri. 9#Mi 3:6, Mat 24:29Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda, ndigwisa enjuba mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi obudde nga butangaala. 10#Is 3:24, Yer 6:26, Kos 2:11Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga; era ndireeta ebibukutu ku biwato byonna, n'ebiwalaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaalibwa omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala. 11#Zab 74:9, Is 8:20,21, Mi 3:7Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama. 12#Am 4:8Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n'okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebuvanjuba; baliddukana mbiro eruuyi n'eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba. 13Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta. 14#1 Bassek 12:29,30, Bik 9:2Abalayira ekibi kya Samaliya ne boogera nti Nga Katonda wo, ai Ddaani, bw'ali omulamu; era nti Ng'ekkubo lya Beeruseba bwe liri eddamu; abo baligwa so tebaliyimuka nate.
Obecnie wybrane:
Amosi 8: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.