1
Makko 9:23
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Yesu n'amugamba nti Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.
Porównaj
Przeglądaj Makko 9:23
2
Makko 9:24
Amangu ago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Nzikirizza saasira obutakkiriza bwange.
Przeglądaj Makko 9:24
3
Makko 9:28-29
Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti Ffe tetwayinzizza kumugoba. N'abagamba nti Engeri eno teyinzika kuvaako lwa kigambo wabula olw'okusaba.
Przeglądaj Makko 9:28-29
4
Makko 9:50
Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka.
Przeglądaj Makko 9:50
5
Makko 9:37
Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.
Przeglądaj Makko 9:37
6
Makko 9:41
Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
Przeglądaj Makko 9:41
7
Makko 9:42
Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja.
Przeglądaj Makko 9:42
8
Makko 9:47
N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi
Przeglądaj Makko 9:47