EKY'ABALEEVI Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo Eky'Abaleevi kirimu amateeka agafa ku kusinza ne ku mikolo egy'eddiini mu Yisirayeli ey'edda, ne ku bakabona abaalina obuvunaanyizibwa okutuukiriza amateeka ago.
Ekikulu ekiragibwa mu kitabo kino, bwe butukuvu bwa Katonda, n'engeri abantu be gye bateekwa okumusinzaamu n'okuyisaamu mu bulamu bwabwe, okusobola okukuuma enkolagana naye, “Omutukuvu wa Yisirayeli.”
Ebigambo ebisinga okumanyibwa mu kitabo kino, by'ebyo ebisangibwa mu 19:18, Mukama waffe Yesu bye yayita ekiragiro ekiddirira ekyo ekisingira ddala obukulu: “Yagalanga muntu munno, nga bwe weeyagala wennyini.”
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Amateeka agafuga ebiweebwayo n'ebitambiro 1:1–7:38
Okwawulibwa kwa Arooni ne batabani be mu bwakabona: 8:1–10:20
Amateeka agafuga emikolo gy'okuba omulongoofu oba atali mulongoofu: 11:1–15:33
Amateeka agafa ku butukuvu mu bulamu ne mu kusinza: 17:1–27:34
Attualmente Selezionati:
EKY'ABALEEVI Ennyanjula: LB03
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.