Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 35

35
Ebibuga ebyaweebwa Abaleevi
1Mukama n'agambira Musa mu nsenyi z'e Mowaabu, okwolekera Yeriko nti, 2“Lagira abaana ba Isiraeri bawe Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku butaka bwabwe, era obawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo olw'okulundirako.#Leev 25:34, Yos 14:4; 21:2 3Ebibuga ebyo binaabanga by'Abaleevi okutuulamu; n'ettaka linaabanga lyabwe okulundirangako amagana gaabwe ag'ente, n'ebisibo byabwe eby'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.”
4“Ettaka eryetoolodde ebibuga lye muliwa Abaleevi, liriva ku bbugwe w'ekibuga, emikono lukumi (1,000) enjuyi zonna. 5Era muligera ebweru w'ekibuga ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'obukiikaddyo emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'obukiikakkono emikono enkumi bbiri (2,000), ekibuga nga kiri wakati. Eryo lye liriba ettaka” ery'okulundirangako, okwetooloola ebibuga byabwe.
6“Ebibuga mukaaga ku ebyo bye muliwa Abaleevi, biriba bibuga bya buddukiro, ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ku ebyo, mulibongerako ebibuga ebirala ana mu bibiri (42).#Ma 4:41-43, Yos 20:2,3,7; 21:3-40 7Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana (48); n'ettaka ery'okulundirangako.#Yos 21:41 8Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abaisiraeri okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.”#Kubal 26:54
Ebibuga eby'obuddukiro
9Mukama n'agamba Musa nti, 10“ Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,#Kuv 21:13, Ma 19:2-4, Yos 20:2-6 11mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro; omunaddukiranga omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde. 12Ebibuga ebyo binaabanga bya kuddukiramu okuwona omuwoolezi w'eggwanga; omussi alemenga okuttibwa nga tannawozesebwa mu maaso g'ekibiina. 13Ebibuga bye muliwaayo okuba ebibuga eby'obuddukiro, biriba mukaaga. 14Muliwaayo ebibuga bisatu ebuvanjuba bwa Yoludaani, n'ebirala bisatu mu nsi y'e Kanani, bibenga bibuga bya buddukiro.#Yos 20:7,8 15Ebibuga ebyo omukaaga binaabanga buddukiro bwa Baisiraeri, n'omugenyi, ne mu nnaggwanga atuula mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga omwo.”#Kubal 15:16
16“Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo nga mussi wa muntu, naye talemanga kuttibwa.#Kuv 21:12,14, Leev 24:17, Ma 19:11,12 17Era bw'amukubanga ejjinja eriyinza okutta omuntu n'afa, oyo nga mussi wa muntu, talemanga kuttibwa. 18Era oyo anaakubanga omuntu n'ekintu eky'omuti, era omuntu oyo n'afa; akoze ekyo nga mussi, talemanga kuttibwa. 19Ow'oluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omussi w'omuntu oyo w'anamusisinkananga wonna.”#Ma 19:6,12
20“Era oba nga yamufumita olw'okumukyawa, oba nga yamuteega n'amukasuukirira ekintu kyonna n'afa;#Kuv 21:14, Ma 19:11 21oba yamukuba ekikonde olw'obulabe, n'amutta; oyo nga mussi wa muntu; ow'oluganda olw'okumpi olw'oyo attiddwa, talemanga kutta mussi oyo wonna w'anamusisinkananga.”
22“Naye oba nga yamufumita mangu awatali bulabe, oba yamukasuukirira ekintu kyonna nga tateeze, 23oba ejjinja lyonna eriyinza okutta omuntu, nga tamulabye, ne limugwako n'okufa n'afa, so nga tabangako mulabe we, era nga teyagenderera ku mukola bubi; 24kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'ow'oluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano.#Yos 20:6 25Ekibiina ky'abantu kinejjeerezanga omussi w'omuntu, ne kimuwonya mu mukono gw'omuwoolezi w'eggwanga era kinaamuzzangayo mu kibuga kye eky'obuddukiro; era anaabeeranga omwo okutuusa kabona eyafukibwako amafuta amatukuvu ng'afudde. 26Naye omussi w'omuntu bw'anasukkanga ensalo ey'ekibuga kye eky'obuddukiro; 27omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ng'asusse ensalo y'ekibuga kye eky'obuddukiro, n'amutta, tabengako musango gwa musaayi; 28kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'obuddukiro, okutuusa kabona omukulu ng'afudde, olwo alyoke addeyo mu nsi ey'obutaka bwe. 29Ago ge ganaabanga amateeka ge muneekuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga. 30Buli anattanga omuntu yenna, anattibwanga olw'obujulizi bw'abajulirwa; naye omujulirwa omu taalumirizenga muntu yenna okuttibwa.#Ma 17:6; 19:15, Beb 10:28 31Era temukkirizanga kununula bulamu bwa mussi wa muntu asaanidde okufa; talemanga kuttibwa. 32Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga kabona asinga obukulu tannafa. 33Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obussi bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obussi obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo omussi.#Lub 9:6, Zab 106:38 34So temwonoonanga nsi gye mutuulamu, gye mbeeramu wakati; kubanga Nze Mukama mbeera wakati mu baana ba Isiraeri.”#Kuv 29:45,46, Leev 18:25; 26:12, Ma 21:23

Attualmente Selezionati:

Okubala 35: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi