Okubala 34
34
Ensalo z'ensi Mukama gye yawa Abaana ba Isiraeri
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti:#Lub 17:8, Kuv 3:8, Zab 105:11 3ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Zini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'omunnyo.#Yos 15:1,2 4Ensalo yammwe erikyukira e bukiikaddyo okwolekera ekkubo eryambuka ku Akulabbimu, ne yeyongerayo n'etuuka e Zini, n'etuukira ddala e Kadesubanea, mu bukiikaddyo. Olwo erikyukira e Kazaladali ne yeyongerayo mu Yazimoni.#Yos 15:3 5Ensalo erikyuka okuva mu Yazimoni, n'eyolekera omugga gwa Misiri, n'ekoma ku Nnyanja Eyawakati.”#Lub 15:4, Yos 15:4
6“Ensalo yammwe ey'ebugwanjuba, eriba Ennyanja Eyawakati.”
7“Ensalo yammwe ey'ebukiikakkono eriva ku Nnyanja Eyawakati okwambukira ddala okutuuka ku lusozi Koola. 8Okuva ku lusozi Koola mulyeyongerayo okutuukira ddala w'oyingirira e Kamasi, era ensalo eryeyongerayo okutuuka ku Zedada.#Kubal 13:21, 2 Bassek 14:25, Ez 47:15,16 9Okuva awo eryeyongerayo okutuuka e Zifuloni n'ekoma ku Kazalenaani; eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiikakkono.”#Ez 47:17
10“Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okutuuka e Sefamu. 11Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Libula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yaini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba lw'ennyanja ey'e Kinneresi.#Ma 3:17, Yos 12:3, 2 Bassek 23:33 12Era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo. Eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.”
13Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Eyo ye nsi gye mulisikira nga mukuba obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu,#Yos 14:1,2 14kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekitundu ky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe.#Kubal 32:33, Yos 14:3 15Ebika ebyo ebibiri n'ekitundu, byamala dda okuweebwa obutaka obwabyo emitala wa Yoludaani, ku ludda olw'ebuvanjuba, okwolekera Yeriko.”
Abakulembeze ab'okugabanyaamu ensi
16Mukama n'agamba Musa nti, 17“Gano ge mannya g'abasajja abaligabanyaamu ensi okuba obutaka: Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.#Yos 14:1 18Era mulitwala omukulembeze omu okuva mu buli kika, okugabanyaamu ensi. 19Gano ge mannya g'abasajja: okuva mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune; 20Okuva mu kika kya Simyoni, Semweri mutabani wa Ammikudi; 21Okuva mu kika kya Benyamini, Eridaadi mutabani wa Kisuloni; 22Okuva mu kika kya Ddaani, Buki mutabani wa Yoguli. 23Okuva mu baana ba Yusufu, mu kika kya Manase, Kanieri mutabani wa Efodi; 24Okuva mu kika kya Efulayimu, Kamweri mutabani wa Sifutani; 25Okuva mu kika kya Zebbulooni, Erizafani mutabani wa Palunaki.#2 Bassek 14:25, Ez 47:15,16 26Okuva mu kika kya Isakaali, Palutieri mutabani wa Azani. 27Okuva mu kika kya Aseri, Akikuda mutabani wa Seromi. 28Okuva mu kika kya Nafutaali, Pedakeri mutabani wa Ammikudi.” 29Abo be basajja Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obutaka mu nsi ya Kanani.
Attualmente Selezionati:
Okubala 34: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: