Okubala 30
30
Amateeka agafuga obweyamo
1Musa n'agamba abakulu b'ebika by'abaana ba Isiraeri nti, “Kino Mukama ky'alagidde.#Kubal 1:4,16 2Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro, taamenyengawo kirayiro kye, anaakolanga nga byonna bwe biri by'ayogedde.#Leev 5:4; 27:2, Ma 23:21, Balam 11:30,35, Zab 66:13,14, Mat 14:7,9 3Omuwala akyali mu maka ga kitaawe bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama oba bw'anerayiriranga ekigambo kyonna, 4kitaawe n'awulira obweyamo n'okwerayirira okw'omuwala kw'akoze n'atabiwakanya; byonna muwala we bye yeeyamye ne bye yerayiridde binaabanga bikakase. 5Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'abiwulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe oba ku kirayiro kye ekikakata, era Mukama anaamusonyiwanga, kubanga kitaawe yamugaana. 6Omuwala bw'anaafumbirwanga nga alina kye yeeyama, oba kye yeerayirira nga ayanguyiriza; 7bba bw'anaakiwuliranga, n'atamugaana ku lunaku lw'akiwulirirako, obweyamo obwo oba ekirayiro kye kinaabanga kikakase. 8Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale obweyamo bwe oba ekirayiro kye yalayirira mu kwanguyiriza, binajjulukukanga, era Mukama anaamusonyiwanga. 9Naye obweyamo bwa nnamwandu oba obw'oyo eyagobebwa bba na buli kye yalagaanya obulamu bwe, anaabituukirizanga. 10Era omukazi omufumbo bwaneeyamiranga obweyamo mu nnyumba ya bba, oba ekigambo kyonna, 11bba n'akiwulira, n'asirika, n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna n'ekirayiro kye binaakakatanga. 12Naye bba bw'anaabigaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, olwo byonna omukazi bye yeeyama ne bye yeerayirira tebikakatenga, kubanga bba yabigaana, era Mukama anaamusonyiwanga. 13Buli bweyamo na buli kwerayirira kwonna, bba ayinza okubikkiriza oba okubigaana. 14Naye bba bw'anaamusirikiriranga ennaku zonna, obweyamo bwe n'okwerayirira kwe binakakatanga, kubanga bba teyamugaana ku lunaku lwe yabiwulirirako. 15Naye bba bw'anaabigaananga ng'ate yabiwulira n'asirika, ye anaabeerangako omusango gwa mukazi we.” 16Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, era wakati w'omuwala ne kitaawe.
Attualmente Selezionati:
Okubala 30: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: