Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 29

29
Ebiweebwayo ku mbaga ey'amakondeere
1“Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olusooka olw'omwezi, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna, lwe lunaku olw'okufuuyirako amakkondeere.#Leev 23:24,25, Kubal 10:10 2Ku lunaku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema; 3n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ebigenderako, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ku lw'endiga ennume, 4n'ekitundu eky'ekkumi kimu ku lwa buli ndiga ento omusanvu, 5n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira: 6Awamu n'ebyo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.#Leev 6:9, Kubal 28:3-8,11-15
Ebiweebwayo ku lunaku olw'okutangirira
7“Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, era munaabonerezanga obulamu bwammwe, era temulukolerangako mulimu gwonna.#Leev 16:29; 23:27, Zab 35:13, Is 58:5-7 8Ku lunaku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema; 9n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi ekitabuddwamu amafuta ekigenderako, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente ennume, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; 10n'ekitundu ekirala eky'ekkumi ku lwa buli ndiga ento omusanvu; 11era munaawangayo embuzi ennume emu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era awamu n'ebyo, ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako.#Leev 16:3,5
Ebiweebwayo ku mbaga ey'ensiisira
12“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna, era munaakwatanga embaga eyo eri Mukama okumala ennaku musanvu.#Leev 23:33-35, Ma 16:13 13Ku lunaku olusooka olw'embaga, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka kkumi na ssatu (13), endiga ennume bbiri, endiga ento eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema, kkumi na nnya (14);#Ezer 3:4 14ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ekigenderako, ebitundu eby'ekkumi bisatu ku lwa buli nte emu ku nte ekkumi n'essatu (13), ebitundu eby'ekkumi bibiri ku lwa buli ndiga emu, ku ndiga ennume ebbiri, 15n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli emu ku ndiga ento ekkumi n'ennya (14). 16Munaawangayo n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako.
17“Ku lunaku olwokubiri olw'embaga, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri (12), endiga ennume bbiri, endiga ento ennume eziwezezza omwaka, era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); 18n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ku lw'ente ennume ne ku lw'endiga enkulu ennume, ne ku lw'endiga ento ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri. 19Era munaawangayo n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, era awamu n'ebyo, ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako.
20“Ku lunaku olwokusatu olw'embaga, munaawangayo ente kkumi n'emu (11), endiga ennume bbiri, n'endiga ento ennume eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); 21n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri, 22n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako.
23“Ku lunaku olwokuna ente kkumi (10), endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana (14), abawezezza omwaka ogumu era abataliiko bulema; 24ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri; 25n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo ekiweebwayo eky'okebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako.
26“Ne ku lunaku olw'okutaano munaawangayo ente mwenda, endiga ennume bbiri, endiga ento eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); 27n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga ng'etteeka bwe liri; 28n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo, ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako.
29“Ku lunaku olw'omukaaga munaawangayo ente munaana, endiga ennume bbiri, endiga ento ennume eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14), 30n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga ng'etteeka bwe liri; 31n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo ekiweebwayo eky'okebwa ekya buli lunaku, ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako.
32“Ku lunaku olw'omusanvu munaawangayo ente musanvu, endiga ennume bbiri, endiga ento ennume ezitannaweza mwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); 33n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri; 34n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako.
35“Ku lunaku olw'omunaana olw'embaga, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna.#Leev 23:36, Yok 7:37 36Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, endiga ento eziwezezza omwaka, era ezitaliiko bulema musanvu; 37ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri; 38n'embuzi ennume emu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako.
39“Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaalagirwa; ng'ogasseeko obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku lwammwe okuba ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'obutta, n'ebiweebwayo eby'okunywa era n'ebiweebwayo olw'emirembe.”#Kuv 23:14-17, Leev 7:11,16; 22:21; 23:4-36 40Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira.

Attualmente Selezionati:

Okubala 29: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi