Okubala 26
26
Okubala abantu omulundi ogwokubiri
1Awo olwatuuka kawumpuli bwe yakoma, Mukama n'agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti, 2“Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri.”#Kubal 1:2,3 3Awo Musa ne Eriyazaali kabona, ne bagamba abakulembeze b'abantu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yoludaani, okwolekera Yeriko nti, 4“Mubale omuwendo gw'abantu bonna abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo; nga Mukama bwe yalagira Musa. Bano be baana ba Isiraeri abaava mu nsi y'e Misiri.”
5Mu kika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, mwe muva enda zino: enda ey'Abakanoki okuva mu Kanoki, enda ey'Abapalu okuva mu Palu,#Lub 46:8,9, 1 Byom 5:1-3 6enda ey'Abakezulooni okuva mu Kezulooni, n'enda ey'Abakalumi okuva mu Kalumi. 7Ezo z'enda eza baana ba Lewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu (43,730). 8Palu yazaala Eriyaabu; 9Eriyaabu n'azaala Nemweri, Dasani ne Abiramu. Dasani ne Abiramu be balondebwa ekibiina, ne begatta ku bagoberezi ba Koola, ne bawakanya Musa ne Alooni ne bajeemera Mukama.#Kubal 16:1-3 10Ettaka ne lyasama ne libamira. Koola n'ekibiina ekyo bwe batyo bwe baafa mu biro ebyo, omuliro bwe gwayokya abasajja bibiri mu ataano (250), ne bafuuka akabonero akalabula.#Kubal 16:31-35,38 11Naye batabani ba Koola bo tebaafa.#Kuv 6:24, 1 Byom 6:22
12Mu kika kya Simyoni mwe muva enda zino: enda ey'Abanemweri okuva mu Nemweri, enda ey'Abayamini okuva mu Yamini, enda ey'Abayakini okuva mu Yakini:#Lub 46:10, Kuv 6:15, 1 Byom 4:24 13enda ey'Abazeera okuva mu Zeera, enda ey'Abasawuli okuva mu Sawuli. 14Ezo z'enda ez'abaana ba Simyoni. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri (22,200).
15Mu kika kya Gaadi mwe mwava enda zino: enda y'Abazefoni okuva mu Zefoni, enda y'Abakagi okuva mu Kagi, enda y'Abasuni okuva mu Suni,#Lub 46:16 16enda ey'Abaozeni okuva mu Ozeni, enda ey'Abaeri okuva mu Eri. 17Enda ey'Abalodi okuva mu Alodi, enda ey'Abaleri okuva mu Aleri, 18Ezo ze nda eza batabani ba Gaadi. Bonna abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500).
19Mu kika kya Yuda mwe muva enda zino: Eri ne Onani abafiira mu nsi ya Kanani;#Lub 46:12, 1 Byom 2:3-5 20enda ey'Abaseera okuva mu Seera, enda ey'Abapereezi okuva mu Pereezi, enda ey'Abazeera okuva mu Zeera. 21Pereezi yazaala Kezulooni mwe muva Abakezulooni, era n'azaala ne Kamuli, mwe muva Abakamuli. 22Ezo z'enda za baana ba Yuda. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano (76,500).#Lub 46:21, 1 Byom 7:6,12; 8:1-5
23Mu lunnyiriri lwa Isakaali mwe muva enda zino: enda ey'Abatola abava mu Tola, enda ey'Abapuva abava mu Puva. 24Enda ey'Abayasubu okuva mu Yasubu: enda ey'Abasimuloni, okuva mu Simuloni. 25Ezo z'enda za baana ba Isakaali, n'abo abaabalibwa ku bo baali, emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu (64,300).
26Mu lunnyiriri lwa Zebbulooni mwe muva enda zino: enda eya Baseredi okuva mu Seredi, enda y'Abaeroni okuva mu Eroni, enda ey'Abayaleeri okuva mu Yaleeri.#Lub 46:14 27Ezo z'enda ez'abaana ba Bazebbulooni. Bonna abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu bitaano (60,500).
28Mu kika kya Yusufu mwe muva enda ya Manase ne Efulayimu.#Lub 46:20 29Manase yazaala Makiri, omuva enda ey'Abamakiri; Makiri yazaala Gireyaadi, omuva enda eya Bagireyaadi; 30Gireyaadi yazaala Yezeeri, omuva enda ey'Abayezeeri, yazaala ne Kereki omuva enda ey'Abakereki; 31yazaala ne Asuliyeri omuva enda ey'Abasuliyeri, yazaala ne Sekemu omuva enda ey'Abasekemu; 32yazaala Semida omuva enda ey'Abasemida; n'azaala Keferi omuva enda ey'Abakeferi.#1 Byom 7:14-19 33Ne Zerofekadi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; amannya gabwe ge gano: Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.#Yos 17:3 34Ezo z'enda za Manase. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
35Mu kika kya Efulayimu mwe muva enda zino: enda ey'Abasusera, okuva mu Susera, enda eya Babekeri okuva mu Bekeri, enda ey'Abatakani okuva mu Takani.#1 Byom 7:20,21 36Susera n'azaala Erani, omuva enda ey'Abaerani. 37Ezo ze nda za baana ba Efulayimu. Abaabalibwa ku bo baali, emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano (32,500). Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
38Mu kika kya Benyamini mwe muva enda zino: enda y'Ababera okuva mu Bera, enda ey'Abasuberi okuva mu Asuberi, enda y'Abakiramu okuva mu Akiramu; 39enda y'Abasufamu okuva mu Sufamu, n'enda y'Abakufamu okuva mu Kufamu. 40Bera yazaala Aluda omuva Abaluda, n'azaala ne Naamani omuva Abanaamani. 41Abo be baana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
42Mu kika kya Ddaani mwe muva enda y'Abasukamu okuva mu Sukamu.#Lub 46:23 43Bonna abaabalibwa ku bo baali emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bina (64,400).
44Mu kika kya Aseri mwe muva enda zino: enda y'Abaimuna okuva mu Imuna, enda y'Abaisuvi okuva mu Isuvi, Enda y'Ababeriya okuva mu Beriya.#Lub 46:17, 1 Byom 7:30,31 45Beriya yazaala Keberi, omuva enda y'Abakeberi, n'azaala ne Malukiyeeri omuva enda y'Abamalukiyeeri. 46Aseri yazaala n'omuwala erinnya lye Seera. 47Ezo z'enda z'abaana ba Aseri. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400).
48Mu kika kya Nafutaali mwe muva enda zino: enda y'Abayazeeri okuva mu Yazeeri, enda y'Abaguni okuva mu Guni;#Lub 46:24, 1 Byom 7:13 49enda y'Abayezeeri okuva mu Yezeeri; enda ya Basiremu okuva mu Siremu. 50Ezo z'enda za baana ba Nafutaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu bina (45,400).
51Bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri baali obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu (601,730).#Kubal 1:46
Okugabira Abaisiraeri obutaka
52Mukama n'agamba Musa nti, 53“ Abo be baligabirwa ensi okuba obutaka bwabwe, okusinziira ku bungi bwabwe. 54Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa.#Kubal 33:54 55Era ettaka lirigabibwa na bululu, ng'amannya g'ebika bya bajjajjaabwe bwe gali.#Kubal 34:13, Yos 14:1,2 56Buli kika kiriweebwa ettaka lyakyo ery'ensikirano, nga likubirwa kalulu, era buli kika kirifuna ettaka okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo.”
Okubala Abaleevi
57Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: Abagerusoni okuva mu nda ya Gerusoni, Abakokasi okuva mu nda ya Kokasi, Abamerali okuva mu nda ya Merali.#Lub 46:11, Kuv 6:16-19, 1 Byom 6:1,16-30 58Zino z'enda ezaava mu Leevi: enda ey'Abalibuni, enda ey'Abakebbulooni, enda ey'Abamakuli, enda ey'Abamusi, n'enda ey'Abakoola. Kokasi yazaala Amulaamu. 59Muka Amulaamu yali ayitibwa Yokebedi, muwala wa Leevi. Yokebedi ye yazaalira Amulaamu Alooni, Musa, ne Miryamu mwannyinaabwe.#Kuv 2:1,2; 6:20 60Alooni ye kitaawe wa Nadabu, Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 61Naye Nadabu ne Abiku baafa, bwe baawaayo omuliro Mukama gwatabalangiranga.#Leev 10:1,2 62Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi ow'omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Bo tebaabalibwa wamu n'Abaisiraeri bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Abaisiraeri abalala.#Kubal 1:49; 3:39; 18:20-24, Ma 14:27, Yos 13:14
63Abo be baana ba Isiraeri, Musa ne Eriyazaali kabona, be baabalira mu nsenyi z'e Mowaabu, ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 64Mu abo abaabalibwa temwali n'omu ku bali abaasooka okubalibwa, Musa ne Alooni mu ddungu ly'e Sinaayi;#Kubal 1:44, Ma 2:14,15 65kubanga Mukama yali aboogeddeko nti, “bonna bagenda kufiira mu ddungu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.”#Kubal 14:28-30, Ma 1:35-38, 1 Kol 10:5, Yud 5
Attualmente Selezionati:
Okubala 26: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: