Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 25

25
Abaisiraeri nga bali e Pyoli
1Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu.#Kubal 31:16; 33:49, Mi 6:5, 2 Peet 2:15, Kub 2:14 2Abamowaabu baayitanga aba Isiraeri okugenda ku mbaga ze bakoleranga ba katonda babwe; ne balya era ne bavunamira ba katonda baabwe.#Kuv 34:15,16, Yos 22:17 3Isiraeri ne yeegatta ne Baali ow'e Pyoli; obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri.#Zab 106:28,29 4Mukama n'agamba Musa nti, “Twala abakulembeze b'abantu bonna obattire mu maaso gange emisana ttuku; ekiruyi kyange kiryoke kive ku Isiraeri.”#Ma 13:17 5Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti, “Buli muntu atte abasajja be abasinzizza Baali ow'e Pyoli.”#Kuv 18:25,26; 32:27 6Mu kaseera ako, omu ku Baisiraeri n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abaisiraeri bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 7Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, bwe yakiraba n'agolokoka n'ava wakati mu kibiina, n'akwata effumu lye;#Kuv 6:25, Zab 106:30 8n'agoberera omusajja Omuisiraeri n'omukazi Omumidiyaani mu weema gye baali, n'abafumita effumu ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri. 9N'abo abaafa kawumpuli baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).#Ma 4:3, 1 Kol 10:8
10Mukama n'agamba Musa nti, 11“Olw'ekyo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, ky'akoze, akkakanyizza ekiruyi kyange ne sizikiriza baana ba Isiraeri.#Kuv 20:5, Ma 32:16,21, Zab 78:58, Zef 1:18 12Kale nno mugambe nti nkola naye endagaano ey'emirembe;#Mal 2:4,5 13era eneebanga endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo, eri ye n'ezadde lye eririmuddirira, kubanga yakkakkanya ekiruyi kyange n'atangirira abaana ba Isiraeri.”#Kuv 40:15, 1 Byom 6:4-15 14Era omusajja Omuisiraeri eyattirwa, awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye yali Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'omu kika kya Simyoni. 15N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye yali Kozebi muwala wa Zuuli; eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu bika bya Bamidiyaani.#Kubal 31:8
16Mukama n'agamba Musa nti, 17“Lumba Abamidiyaani obatte, 18kubanga balabe bammwe. Baabaasalira enkwe ne babasenderasendera e Pyoli, ne musobya; n'olwa Kozebi, mwannyinaabwe, muwala w'omukulu wa Midiyaani, eyattirwa ku lunaku lwa kawumpuli e Pyoli.”

Attualmente Selezionati:

Okubala 25: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi