Okubala 20
20
Okutambula okuva e Kadesi okutuuka mu nsenyi za Mowaabu
(20:1—21:35)
Ebyali e Kadesi
1Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogwolubereberye, ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo era n'aziikibwa eyo.#Kubal 12:1; 33:36 2Ekibiina ne kibulwa amazzi, ne bakuŋŋaanira awali Musa ne Alooni.#Kuv 17:1, Kubal 16:42 3Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa naffe twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama!#Kubal 11:1,33; 16:49 4Era mwaleetera ki ekibiina kya Mukama mu ddungu muno, ffe okufiira omwo, n'ebisibo byaffe?#Kuv 17:3 5Era mwatuggira ki mu Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi, ekitaliimu ŋŋaano, omutali ttiini, omutali mizabbibu, so si kya mikomamawanga; wadde amazzi ag'okunywa?” 6Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
7Mukama n'agamba Musa nti, 8“Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Alooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Bw'otyo bw'on'obaggyira amazzi mu lwazi onywese ekibiina ky'abantu n'ebisibo byabwe.”#Kuv 17:5, Zab 78:15,16 9Musa n'addira omuggo ng'aguggya mu maaso ga Mukama, nga bwe yamulagira. 10Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, Musa n'abagamba nti, “Muwulire nno, mmwe abajeemu; tetuyinza ffe kubaggyira amazzi mu lwazi luno?”#Zab 106:32,33 11Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri; ne muvaamu amazzi, abantu bonna ne banywa n'ebisibo byabwe.#Kuv 17:6 12Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Olw'okubanga temuneesize okukola nga bwe nnabalagidde, okumpeesa ekitiibwa mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kye muliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde.” 13Ago ge mazzi ag'e Meriba; abaana ba Isiraeri gye beemulugunyiza Mukama, n'abalaga nga bw'ali omutukuvu.#Kuv 17:7, Kubal 27:14, Ma 1:37; 32:51#20:13 Meriba Mu Lwebbulaniya litegeeza “Mpaka” oba “Kwemulugunya.”
Kabaka wa Edomu agaana abaana ba Isiraeri okuyita mu nsi ye.
14Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w'e Edomu, n'amugamba nti, “Omanyi ennaku zonna ezatuuka ku Isiraeri muganda wo.#Balam 11:16,17, Ob 10,12 15Bajjajjaffe baagenda e Misiri, ne tubeera mu Misiri okumala emyaka mingi. Abamisiri ne babonyaabonya bajjajjaffe naffe.#Lub 46:6, Kuv 1:11; 12:40 16Awo bwe twakaabirira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika n'atuggya mu Misiri; era, laba, kaakano tuli mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo.#Kuv 2:23; 3:2,7; 14:19 17Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka, lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.” 18Edomu n'amugamba nti, “ Tojja kuyita mu nsi yaffe, bw'olikikola nja kubalwanyisa.” 19Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti, “Tuliyita mu luguudo mwokka; bwe tunaanywanga ku mazzi go, ffe n'ebisibo byaffe, kale tunagasasuliranga. Nkwegayiridde tukkirize tuyitemu buyisi n'ebigere.”#Ma 2:6,28 20N'agamba nti, “Toliyitamu.” Edomu n'amutabaala n'eggye eddene, n'eby'okulwanyisa eby'amaanyi. 21Bw'atyo Edomu n'agaana Isiraeri okuyita mu nsi ye, Isiraeri kyeyava akyuka n'akwata ekkubo eddala.#Ma 2:27,29, Balam 11:18
Okufa kwa Alooni
22Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Kadesi ne batambula ne batuuka ku lusozi Kooli.#Kubal 33:37 23Mukama n'agamba Musa ne Alooni ku lusozi Kooli, oluli ku nsalo n'ensi ya Edomu, ng'ayogera nti, 24“Alooni ajja kufa agoberere bajjajjaabe. Taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba. 25Kale twala Alooni ne Eriyazaali mutabani we, olinnye nabo ku lusozi Kooli. 26Alooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eriyazaali mutabani we. Alooni anaafiira eyo n'agoberera bajjajjaabe.” 27Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. Ne balinnya ku lusozi Kooli ng'ekibiina kyonna kiraba. 28Musa n'ayambulamu Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we. Alooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Musa ne Eriyazaali ne bakka okuva ku lusozi.#Kuv 29:29,30, Kubal 33:38,39, Ma 10:6 29Awo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe kyamanya nga Alooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku asatu (30).#Ma 34:8
Attualmente Selezionati:
Okubala 20: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.