Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 16

16
Obujeemu bwa Koola, Dasani ne Abiramu
1Awo Koola, mutabani wa Izukali, Izukali mutabani wa Kokasi, asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, ne Oni mutabani wa Peresi, ab'omu kika kya Lewubeeni, 2ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abaisiraeri abalala bibiri mu ataano (250), abakulembeze abaatiikirivu abaalondebwa mu kibiina. 3Ne balumba Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Muyitirizza okwekuza, kubanga buli muntu mu kibiina mutukuvu, kale lwaki mwegulumiza okusinga ekibiina kya Mukama kyonna?”#Kuv 19:6; 29:45, Zab 106:16-18
4Awo Musa bwe yakiwulira, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise. 5Musa n'agamba Koola nti, “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali.#Kuv 28:1, Leev 10:3, 1 Sam 2:28, Zab 65:4, Ez 44:15,16, 2 Tim 2:19 6Mukole bwe muti; enkya ku makya, ggwe Koola, ne banno bonna, 7mutwale ebyoterezo, mubisseeko omuliro n'obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Mukama omuntu gw'analonda ye anaaba omutukuvu; nammwe batabani ba Leevi, muyitirizza okwekuza.” 8Musa n'agamba Koola nti, “Muwulire nno, mmwe batabani ba Leevi; 9Mukiyita kitono, Katonda wa Isiraeri okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abaisiraeri okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza?#Ma 10:8 10Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era mukaayanira n'obwakabona? 11Lwaki ggwe ne banno mujeemera Mukama; ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?”#Kuv 16:7,8, Lub 19:12-14, Is 52:11, Kub 18:4
12Musa n'atumya Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu; ne bagamba nti, “Tetujja kujja. 13Okiyita kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, n'otuleeta okututtira mu ddungu, era n'otwefuulirako omulangira?#Kuv 2:14 14N'ekirala totuleese mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu; kati oyagala kutubuzaabuza? Tetujja kujja.” 15Awo Musa n'asunguwala nnyo n'agamba Mukama, nti, “Tokkiriza kiweebwayo kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkoze obubi.”#Lub 4:4,5, 1 Sam 12:3 16Musa n'agamba Koola nti, “Ggwe n'ekibiina kyo kyonna ne Alooni, enkya ku makya mujje mu maaso ga Mukama. 17Ggwe Koola ne banno ebibiri mu ataano (250) ne Alooni, muddire ebyoterezo byammwe, mubiteekeko obubaane, mu bireete mu maaso ga Mukama.” 18Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni. 19Koola n'akuŋŋaanyiza ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu nga boolekedde Musa ne Alooni; ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.#Leev 9:23
20Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 21“Muve wakati mu kibiina kino ndyoke nkizikirize mangu ago.”#Lub 19:15, Kuv 33:5 22Awo Musa ne Alooni ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna?”#Lub 18:23-25, Kubal 27:16, 2 Sam 24:17, Yob 12:10, Mub 12:7, Is 57:16, Zek 12:1, Beb 12:9
23Mukama n'agamba Musa nti, 24“Gamba ekibiina nti, ‘Mugolokoke muve awali Weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu.’ ” 25Musa n'agolokoka n'agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera. 26N'agamba ekibiina nti, “Mbeegayiridde, muve awali weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyabwe kyonna, muleme okuzikirizibwa olw'ebibi byabwe byonna.”#Lub 19:12-14, Is 52:11, Kub 18:4 27Awo ne bava awali ennyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. Naye Dasani ne Abiraamu, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato ne bafuluma ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe. 28Musa n'agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola.#Yer 23:16, Ez 13:2 29Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo nga tebatuukiddwako kibonerezo kya njawulo; kale Mukama nga teyantuma. 30Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.”
31Awo olwatuuka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka eryali wansi waabwe ne lyasama.#Yud 11 32Ne libamira bo, wamu ne Koola n'abantu be bonna, n'ennyumba zaabwe, n'ebintu byabwe byonna.#Zab 106:17 33Ne bakka bonna n'ebyabwe nga balamu mu bunnya, ettaka ne libasanikira ne basaanawo. 34Abaisiraeri bonna abaali babeetooloodde ne badduka olw'okukaaba kwabwe, nga nabo batya ettaka okubamira. 35Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano (250) abaawaayo obubaane.#Leev 10:2, Zab 106:18
Ebyoterezo
36Mukama n'agamba Musa nti, 37“Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, aggye ebyoterezo mu bintu ebyokeddwa, kubanga ebyoterezo ebyo bitukuvu, era asaasaanye amanda g'omuliro agabirimu. 38Ebyoterezo bya bajeemu abo abaafa biweesebwemu embaati zibikkenga ku kyoto, kubanga baabiwaayo mu maaso ga Mukama, era bitukuvu, binaabanga akabonero eri abaana ba Isiraeri bonna.”#Kubal 17:10; 26:10, Nge 20:2, Kaab 2:10 39Awo Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo, eby'abantu abayokebwa bye baawaayo, ne babiweesamu embaati ez'okubikkanga ku kyoto, 40okujjukizanga Abaisiraeri nti buli muntu atali wa lulyo lwa Alooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koola n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eriyazaali ng'ayita mu Musa.#Kubal 3:10
41Naye ku lunaku olwaddirira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti, “Mwasse abantu ba Mukama.”#Kubal 14:2 42Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira Eweema ey'okusisinkanirangamu; era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.#Kuv 40:34, Kubal 14:10, Kuv 38:21 43Musa ne Alooni ne bajja mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
44Mukama n'agamba Musa nti, 45“Mugolokoke muve wakati mu kibiina kino, mbazikirize mangu ago.” Ne beeyala ku ttaka nga beevuunise. 46Musa n'agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire; kubanga obusungu bufulumye eri Mukama, kawumpuli atanudde.”#Leev 10:6, Kubal 8:19; 11:33, 1 Byom 27:24 47Alooni n'addira nga Musa bwe yayogera, n'adduka n'agenda wakati mu kibiina; era, laba, kawumpuli ng'atanudde mu bantu. 48N'ayimirira wakati w'abafu n'abalamu; kawumpuli n'aziyizibwa.#2 Sam 24:25 49N'abo abaafa kawumpuli baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu (14,700), obutassaako abo abaafa olw'ebigambo bya Koola. 50Alooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu; kawumpuli n'aziyizibwa.

Attualmente Selezionati:

Okubala 16: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi