Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala 16:30-32

Okubala 16:30-32 LBR

Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.” Awo olwatuuka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka eryali wansi waabwe ne lyasama. Ne libamira bo, wamu ne Koola n'abantu be bonna, n'ennyumba zaabwe, n'ebintu byabwe byonna.