Logo YouVersion
Icona Cerca

Eby'Abaleevi 18

18
Okubeera abatukuvu (18:1—22:33)
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe.#Kuv 6:7, Ez 20:5 3Temukolanga ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri gye mwatuulangamu, newakubadde eby'omu nsi ey'omu Kanani gye mbatwalamu, so temutambuliranga mu mpisa zaabwe.#Kuv 23:24, Ez 20:7,8 4Munaakwatanga ebiragiro byange, n'amateeka gange ge munaatambulirangamu. Nze Mukama Katonda wammwe.#Ez 20:19 5Kale mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu: Nze Mukama.”#Ez 20:11, Luk 10:28, Bar 10:5, Bag 3:12
6“Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okwegatta naye. Nze Mukama. 7Toswazanga kitaawo nga wegatta ne nnyoko. Nnyoko teweegattanga naye.#Leev 20:11-21 8Teweegattanga na musika wa nnyoko okuswaza kitaawo.#Ma 22:30; 27:20, 1 Kol 5:1 9Teweegattanga na mwannyoko azaalibwa kitaawo oba azaalibwa nnyoko, abeere nga yazaalibwa waka oba walala.#Lub 20:12, Ma 27:22, 2 Sam 13:12 10Teweegattanga na muzzukulu wo oba wa mulenzi oba wa muwala. 11Teweegattanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe. Oyo mwannyoko, teweegattanga naye. 12Teweegattanga na senga wo, kubanga oyo mwannyina kitaawo. 13Teweegattanga na muganda wa nnyoko, kubanga oyo naye nnyoko. 14Teweegattanga na mukazi wa kitaawo omuto. Oyo naye nnyoko. 15Teweegattanga na muka mwana wo.#Lub 38:6-26 16Teweegattanga na muka muganda wo.#Ma 25:5, Mat 14:3,4; 22:24 17Teweegattanga na mukazi ate ne wegatta ne muwala we, so era teweegattanga na muzzukulu we, oba wa mulenzi oba wa muwala; ekyo kibi.#Ma 27:23 18Teweegattanga na mukazi wamu ne mugandawe, okuba muggyawe, nga mukazi wo akyali mulamu.#Lub 30:15 19Teweegattanga na mukazi ali mu mbeera z'abakazi ez'okweyawula kwabwe.#Leev 15:24; 20:18 20Teweegattanga na muka muliraanwa wo.#Kuv 20:14 21Towangayo ku zzadde lyo okuba ssaddaaka ey'omuliro eri Moleki, okuvumaganyisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.#Leev 19:12; 20:2-5; 22:32, 1 Bassek 11:7,33, Ez 36:20, Mal 1:12#18:21 Moleki Ono yali katonda oba lubaale wa b'Amoni (1 Bassek 11:7; 2 Bassek 23:10). 22Teweegattanga na musajja nga bwe begatta n'abakazi, ekyo kya muzizo.#Bar 1:27, 1 Tim 1:10 23Omusajja oba omukazi, teyegattanga na nsolo yonna; obwo bugwagwa.”#Kuv 22:19, Ma 27:21
24“Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna; kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe;#Leev 20:23, Ma 9:4; 18:12, Mat 15:18 25n'ensi eyonoonese; kyenva mbagaanira ddala, ne mbazikiririza ddala okuva mu nsi.#Leev 18:27,28; 20:22, Is 24:5; 26:21 26Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange, so temukolanga bya mizizo ebyo byonna; enzaalwa oba munnaggwanga atuula mu mmwe. 27Abasajja abaasooka mu nsi baakola eby'emizizo ebyo byonna ensi n'eyonooneka; 28nammwe nneme okubagaana, n'okubazikiririza ddala nga bwe nnakola eggwanga ery'abasooka. 29Omuntu yenna bw'anaakolanga ku by'emizizo ebyo, anaaboolebwanga mu bantu be. 30Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga mpisa yonna ku ezo ez'omuzizo ezakolebwanga abaabasooka. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Attualmente Selezionati:

Eby'Abaleevi 18: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi