Eby'Abaleevi 12
12
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Gamba abaana ba Isiraeri nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye.#Leev 15:19, Luk 2:22 3Awo ku lunaku olw'omunaana omwana omulenzi anaakomolebwanga.#Lub 17:12, Luk 1:59; 2:21 4Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu (33) okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala nga gulekedde awo. Mu kiseera ekyo taakomenga ku kintu kyonna ekitukuvu, era taayingirenga mu kifo ekitukuvu. 5Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaabanga atali mulongoofu okumala Ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga (66) nga si mulongoofu okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala gulekedde awo. 6Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga, ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi.#Luk 2:22 7Kabona anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala. 8Bw'ataasobolenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi; kale kabona anaamutangiriranga, naye anaabanga mulongoofu.”#Leev 4:26; 5:7, Luk 2:24
Attualmente Selezionati:
Eby'Abaleevi 12: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.