Yoswa 9
9
Abagibyoni balimba Yoswa
1Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku lubalama lwonna olw'ennyanja Ennene, olusozi Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi, n'Abakiivi, n'Abayebusi, bwe baawulira obuwanguzi bwa Yoswa;#Kuv 3:8; 13:5, Yos 3:10; 12:8 2ne balyoka bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n'Abaisiraeri, n'omwoyo gumu.
3Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne Ayi,#Yos 6:21,24; 8:26,28; 10:2, 2 Sam 21:1,2 4ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa; 5n'engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; n'emmere yonna ey'entanda yaabwe ng'ekaliridde ng'ekutte obukuku. 6Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Girugaali, ne bamugamba ye n'abantu ba Isiraeri nti, “Tuvudde mu nsi ye wala; kale kaakano mulagaane naffe.” 7N'abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti, “Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe?”#Ma 7:2, Yos 11:19, Balam 2:2 8Ne baddamu nti, “Tuli baddu bo.” Yoswa n'ababuuza nti, “Mmwe baani, era muva wa?” 9Ne bamugamba nti, “Abaddu bo bavudde mu nsi y'ewala nnyo okujja wano. Kubanga twawulira ettutumu lya Mukama Katonda wo, ne byonna bye yakola mu Misiri,#Ma 20:15, Yos 2:10; 6:27 10ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka we Kesuboni, ne Ogi kabaka we Basani, eyali mu Asutaloosi.#Kubal 21:21-35, Ma 1:4 11Awo bakadde baffe n'abantu bonna ab'omu nsi yaffe ne batugamba nti ‘musibire olugendo luno entanda, mugende mu maaso gaabwe mubagambe nti, Tuli baddu bammwe, kale kaakano mukole naffe endagaano ey'emirembe.’ 12Emmere yaffe eno ey'entanda twagisiba ng'ekyabuguma mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku; 13n'amaliba gano ag'omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise; n'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.” 14Abaisiraeri ne balya ku ntanda yaabwe, naye ne batabuuza kuluŋŋamizibwa kuva eri Mukama.#Kubal 27:21 15Yoswa n'abakulu b'ekibiina ne bakola nabo endagaano ey'emirembe ne babalayirira obutabatta.#Yos 11:9 16Awo bwe waayitawo ennaku ssatu (3) nga bamaze okukola endagaano eyo, Abaisiraeri ne bawulira ng'abantu abo baliraanwa baabwe ab'okumpi ddala. 17Abaana ba Isiraeri ne batambula, ne ku lunaku olwokusatu (3) ne batuuka mu bibuga byabwe. Ebibuga byabwe byali Gibyoni, Kefira, Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.#Yos 18:25-28 18N'abaana ba Isiraeri ne batabatta, kubanga abakulu b'ekibiina baali babalayiridde eri Mukama Katonda wa Isiraeri. Ekibiina ky'Abaana ba Isiraeri kyonna ne kyemulugunyiza abakulu baabwe. 19Naye abakulu bonna ne baddamu ekibiina kyonna nti, “Abantu abo twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri; kale kaakano tetuuyinze kubakolako kabi. 20Tubaleke nga balamu, kubanga twabalayirira, Mukama aleme okutusunguwalira.”#2 Sam 21:2 21Abakulu ne bagamba ekibiina nti, “Mubaleke nga balamu; baasenga enku era bakimirenga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri amazzi.” 22Yoswa n'abayita n'ababuuza nti, “Lwaki mwatulimba nga mwogera nti, ‘Tuva wala nnyo so ng'ate muli ba wano kumpi?’#Yos 9:6,9; 16 23Kale kaakano mukolimiddwa, abantu bammwe banaabanga baddu ennaku zonna, abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ennyumba ya Katonda wange.” 24Ne bamuddamu Yoswa nti, “Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi eno yonna, n'okuzikiriza bonna abagirimu; kyetwava tutya okututta, ne tukola bwe tutyo.#Ma 7:1,2 25Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo; tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.” 26Era bw'atyo bwe yabakola, n'abawonya mu mukono gw'abaana ba Isiraeri okubatta. 27Ku lunaku olwo Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne mu kifo ekirala kyonna ky'anaabalagiranga. Ogwo gwe mulimu gwabwe ne kaakano.#Ma 12:5
Attualmente Selezionati:
Yoswa 9: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.