Logo YouVersion
Icona Cerca

Yoswa 18

18
Okugabira ebika ebisigaddeyo obutaka
1Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe bamala okuwangula ensi ne bakuŋŋaanira e Siiro, ne basimba eyo eweema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu. Ensi yonna n'eba mu mikono gyabwe.#Kuv 33:7, 1 Sam 1:3, Yer 7:12,14; 26:6,9 2Waali wakyasigaddeyo ebika musanvu mu baana ba Isiraeri, ebyali bitanafuna butaka bwabyo. 3Yoswa n'abuuza abaana ba Isiraeri nti, “Mulituusa wa okugayaala ne mutagenda kugabana nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?#Balam 18:8 4Kale no mwerondemu abasajja basatu, okuva mu buli kika, mbatume bagende beetegereze ensi, bawandiike bweyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi. 5Ensi baligigabanyamu ebitundu musanvu. Yuda nga asigala ku nsalo ye ku luuyi olw'obukiikaddyo, n'ennyumba ya Yusufu nga esigala ku nsalo yayo ku luuyi olw'obukiikakkono.#Yos 15:1; 16:1,4 6Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe.#Yos 14:2 7Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manase, Musa omuweereza wa Mukama yamala dda okubawa obutaka bwabwe ebuvanjuba bwa Yoludaani.”#Kubal 32:33, Yos 13:33 8Abantu ne basituka ne bagenda; Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti, “Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro.” 9Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siiro. 10Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siiro. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri ekyali kitanagabana n'akiwa obutaka bwakyo.#Yos 12:7
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Benyamini
11Akalulu bwe kakubibwa ekika kya Benyamini kye kyasooka okulondebwamu, n'ekiweebwa obutaka mu makati w'ekika kya Yuda ne Yusufu. 12Ensalo yaabwe mu bukiikakkono nga eva ku Yoludaani neyambuka okutuuka ku bukiikakkono bw'ekikono kya Yeriko, neyeyongerayo mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba n'ekoma ku ddungu Besaveni.#Yos 16:1,3 13Okuva eyo n'eyita ku bukiikaddyo okwolekera Luzi, ku kikono kya Luzi, ye Beseri, n'ekka okutuuka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku bukiikaddyo bwa Besukolooni eky'emmanga. 14Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, neva ku bukiikaddyo nedda ku bugwanjuba bw'olusozi Besukolooni, neyeyongerayo ku Kiriasubaali ye Kiriyasuyalimu, ekibuga eky'abaana ba Yuda ku luuyi olw'ebugwanjuba.#Yos 15:9,60 15Mu bukiikaddyo obwa ddyo, ensalo netandikira Kiriyasuyalimu we kikoma, neyeyongerayo ebugwanjuba okutuuka ku luzzi olw'e Nefutoa;#Yos 15:5-9 16ensalo n'ekka olusozi gyerukoma oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, mu bukiikakkono obw'ekiwonvu kya Leefa, n'ekka mu bukiikaddyo nga eyita mu kiwonvu Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bwa Yebusi n'ekka okutuuka ku Enerogeri; 17neyeyongerayo e bukiikakkono, n'ekoma ku Ensemesi, neyeyongerayo okutuuka e Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo erigenda Adummimu; neyeyongerayo n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni; 18n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiikakkono, n'ekka mu Alaba; 19ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiikakkono; n'ekoma Yoludaani weguyira ku bukiikakkono bw'ennyanja ey'omunnyo; eyo ye nsalo ey'obukiikaddyo. 20Ate omugga Yoludaani gwe gwali ensalo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'ekika kya Benyamini nga enda zaabwe bwe zaali. 21Era bino bye byali ebibuga by'ekika kya Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: Yeriko, Besukogula ne Emekkezizi;#Yos 18:12 22Besualaba, Zemalaimu, ne Beseri; 23Avvimu, Pala, ne Ofula 24Kefalamoni, Ofuni, ne Geba; bye bibuga kkumi na bibiri (12) n'ebyalo byabyo. 25Waliwo ne bibuga bino: Gibyoni, Laama, ne Beerosi; 26Mizupe, Kefira, ne Moza; 27Lekemu, Irupeeri, ne Talala; 28Zeera, Erefu, Yebusi ye Yerusaalemi, Gibeasi ne Kiriasi; bye bibuga kkumi na bina (14) n'ebyalo byabyo. Obwo bwe butaka bwe kika kya Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali.#Yos 15:8, Balam 19:10-12

Attualmente Selezionati:

Yoswa 18: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi