Logo YouVersion
Icona Cerca

Yoswa 12

12
Bakabaka Musa be yawangula
1Bano be bakabaka ab'ensi, abaana ba Isiraeri be bawangula ne batwala ensi yaabwe eri emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba;#Kubal 21:13,24, Ma 3:8,9 2Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni ng'afuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuukira ddala ku mugga Yabboki, oguli ku nsalo ey'abaana ba Amoni;#Kubal 21:21-26, Ma 2:32,33,36; 3:6,16 3era yafuga ne Alaba okutuukira ddala ku nnyanja ey'e Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, naatuukira ddala ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku kkubo eridda e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiikaddyo, wansi w'olusozi Pisuga.#Yos 11:2 4N'awangula ne Ogi kabaka w'e Basani, omu ku Balefa abaali basigaddewo, eyafugiranga mu Asutaloosi ne mu Ederei,#Kubal 21:33-35, Ma 1:4; 3:11 5era eyafugiranga ne ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuukira ddala ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi okutuukira ddala ku nsalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni.#Ma 3:8,10,14, Yos 13:11 6Musa omuweereza wa Mukama n'Abaisiraeri baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase ebe yaabwe.#Kubal 32:29,33, Ma 3:11, Yos 13:8
Bakabaka Yoswa be yawangula
7Era bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be bawangula ebugwanjuba bwa Yoludaani okuva e Baalugadi ekiri mu kiwonvu kya Lebanooni okutuukira ddala ku lusozi Kalaki, n'okwambuka okutuuka e Seyiri; Yoswa n'agiwa abaana ba Isiraeri ebe eyabwe, buli kika nga akiwa ekitundu ekyabwe;#Yos 11:17,23 8ekitundu ekyo kyatwalirangamu ensi ey'ensozi, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, okutuukira ddala mu ddungu obukiikaddyo; mwe mwabeeranga Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n'Abayebusi.#Yos 11:16 9Abaana ba Isiraeri bawangula ne bakabaka bano: ow'e Yeriko, ow'e Ayi, ekiriraanye Beseri, omu;#Yos 6:2; 8:29 10Ow'e Yerusaalemi, omu; ow'e Kebbulooni;#Yos 10:23 11Ow'e Yalamusi, ow'e Lakisi; 12Ow'e Eguloni, ow'e Gezeri,#Yos 10:23,33, Kubal 1:29 13Ow'e Debiri, ow'e Gederi,#Yos 10:38,39 14Ow'e Koluma, ow'e Yaladi, 15Ow'e Libuna, ow'e Adulamu;#Yos 10:29 16Ow'e Makkeda, ow'e Beseri;#Yos 10:28 17Ow'e Tappua, ow'e Keferi;#Yos 10:28, Balam 1:22 18Ow'e Afeki, ow'e Lasaloni; 19Ow'e Madoni, ow'e Kazoli;#Yos 11:1 20Ow'e Simulonimeroni, ow'e Akusafu; 21Ow'e Taanaki, ow'e Megiddo;#Balam 1:27 22Ow'e Kedesi, ow'e Yokuneamu; 23Ow'e Doli ku lusozi Doli, ow'e Goyiyimu mu Girugaali;#Yos 11:2 24n'owe Tiruza, bakabaka bonna baali asatu mu omu (31).

Attualmente Selezionati:

Yoswa 12: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi