Yoswa 11
11
Yoswa awangula Yabini na bawagizi be
1Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yawulira obuwanguzi bwa Isiraeri, n'atumira Yobabu kabaka w'e Madoni, ne kabaka w'e Simuloni, ne kabaka w'e Akusafu,#Balam 4:2 2ne bakabaka abaali ku luuyi olw'obukiikakkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiikaddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba.#Balam 1:27 3Era n'atumira n'Abakanani ab'ebuvanjuba n'ebugwanjuba, n'Abamoli, n'Abakiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi ab'omu nsi ey'ensozi, n'Abakiivi mu nsi ey'e Mizupa, olusozi Kerumooni gye lusimba. 4Awo ne bajja, buli omu n'eggye lye, ne baba bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.#Balam 7:12, 1 Sam 13:5 5Awo bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basiisira wamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri. 6Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya abo, kubanga enkya nga kaakano nnaaba mmaze okubawaayo eri Isiraeri nga bafu. Embalaasi zaabwe onoozitema enteega, n'amagaali gaabwe onoogokya omuliro.”#Ma 20:1, Yos 10:8; 17:16-18, Balam 1:19; 4:3, 2 Sam 8:4 7Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi be bonna n'abazinduukiriza ku mazzi g'e Meromu nga tebamanyi.#Yos 10:9 8Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu eky'e Mizupe mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu. 9Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagira; n'atema embalaasi zaabwe enteega, n'amagaali gaabwe n'agokya omuliro.
10Mu biro ebyo, Yoswa n'adda emabega n'akuba Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala. Edda Kazoli kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.#Balam 4:2 11Ne batta abantu bonna abaalimu ne batalekaawo n'omu nga mulamu, n'ekibuga ne bakyokya omuliro.#Yos 10:40 12Yoswa n'awamba ebibuga ne bakabaka baamu bonna, n'atta buli muntu obutalekaawo n'omu, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. 13Naye ebibuga ebyazimbimbwa ku bifunvu, Abaisiraeri tebaayokyako n'ekimu, okuggyako Kazoli kyokka, Yoswa kye yayokya. 14Abaana ba Isiraeri ne beetwalira omunyago gw'ebibuga ebyo awamu n'ente, naye ne batta buli muntu yenna obutalekaawo n'omu. 15Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, bw'atyo ne Musa bwe yalagira Yoswa; ne Yoswa bw'atyo bwe yakola n'ataleka kintu kyonna obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa.#Kuv 34:11,12, Ma 7:2, Yos 1:7
Ebitundu by'ensi Yoswa bye yawamba
16Bw'atyo Yoswa bwe yawamba ensi eyo yonna, ensi ey'ensozi, n'ey'obukiikakkono n'ey'obukiikaddyo, n'ekitundu kyonna ekya Goseni,#11:16 Goseni Ono si y'oyo ayogerwako mu nsi ey'e Misiri. n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ekiwonvu kyayo;#Yos 10:40; 11:1 17n'okuva ku lusozi Kalaki, okwambuka e Seyiri, n'okutuuka e Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita n'abatta.#Ma 7:24 18Yoswa yalwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna.#Yos 14:7,10 19Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni. Ebibuga ebirala byonna babiwambira mu kulwana.#Yos 9:3,7,15 20Kubanga Mukama yabakakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, awatali kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kuv 4:21, Ma 2:30; 20:16,17, Bar 9:18
21Mu biro ebyo Yoswa n'agenda n'azikiririza ddala Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri; Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe.#Kubal 13:22,33, Ma 1:28, Yos 15:13-15, Balam 1:10-15 22Tewaali b'Anaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri; wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu.#1 Sam 17:4 23Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abaisiraeri ensi eyo okuba obusika bwabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula okulwana.#Kubal 26:52-56; 34:2-12, Yos 12:7; 14:1,2; 21:44
Attualmente Selezionati:
Yoswa 11: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: