Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyabalamuzi 11

11
Omulamuzi Yefusa
1Yefusa Omugireyaadi yali musajja wa maanyi era omuzira, omwana w'omukazi omwenzi, kitaawe nga ye Gireyaadi.#Beb 11:32 2Gireyaadi yalina mukazi we eyamuzaalira abaana abalenzi abalala; abalenzi abo bwe bakula, ne bagoba Yefusa awaka, nga bagamba nti, “Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.”#Lub 21:10 3Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n'abeera mu nsi ye Tobu, abasajja abalalulalu ne begatta ne Yefusa ne batabaalanga naye.#1 Sam 22:2, Balam 9:4
4Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo abaana ba Amoni ne balwana ne Isiraeri. 5Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye Tobu; 6ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere, tulwanyise abaana ba Amoni.” 7Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Kiki ekibaleese gye ndi kaakano nga mutuuse mu buzibu?” 8Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Kyetuvudde tujja gyoli, ogende naffe tulwanyise abaana ba Amoni, era oliba mufuzi w'abantu bonna mu Gireyaadi.”#Balam 10:18 9Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange ne mbawangula; ndiba mufuzi wammwe.” 10Abakadde be Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tukkiriza Mukama ye mujulirwa wakati waffe naawe.”#Yer 42:5 11Awo Yefusa n'alyoka agenda n'abakadde ab'e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga; Yefusa n'agenda e Mizupa n'ategeeza Mukama ebigambo ebyo byonna.#Balam 10:17,18, 1 Sam 10:17,19
12Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni n'amubuuza nti, “Onvunaana ki? Lwaki ozze okulwanyisa ensi yange?” 13Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isiraeri bweyava mu Misiri yatwala ensi yange, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani, kale kaakano munzirize ensi yange mu mirembe.”#Kubal 21:13,24-26 14Yefusa n'atuma nate ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni, 15n'abagamba nti, “Isiraeri tenyaganga nsi ya Mowaabu, newakubadde ensi y'abaana ba Amoni,#Ma 2:9,19 16Isiraeri bweyava e Misiri, yayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, naggukira e Kadesi;#Kubal 13:26; 14:25, Ma 1:40 17Awo Isiraeri n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde, ka mpite mu nsi yo;’ naye kabaka wa Edomu n'atayinza kuwulira. Era n'atumira bw'atyo ne kabaka wa Mowaabu, naye n'atakkiriza, Isiraeri n'atuula mu Kadesi.#Kubal 20:1,14,18-21, Ma 1:46 18Isiraeri n'alyoka akwata ekkubo ery'omu ddungu ne yeetooloola. Ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, n'asiisira emitala w'omugga Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu.#Kubal 21:4,11,13; 22:36, Ma 2:1-8 19Era Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli eyatuulanga e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti, ‘Tukwegayiridde tukkirize tuyite mu nsi yo tugende mu kifo kyaffe.’#Kubal 21:21-26, Ma 2:26-37 20Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsi ye; n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi okulwana ne Isiraeri. 21Mukama, Katonda wa Isiraeri, n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri, ne babatta; Isiraeri n'alyoka atwala ensi yonna ey'Abamoli ne bagituulamu. 22Ne batwala ensi yonna ey'Abamoli, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yabboki, era n'okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani. 23Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, ye yagobamu Abamoli n'agiwa Isiraeri, ate kaakano ggwe oyagala kugyediza? 24Sigaza ekyo Katonda wo Kemosi ky'eyakuwa, naffe tugenda kukuuma ekyo Mukama Katonda waffe kyeyatuwa.#Kubal 21:29, Ma 9:5; 18:12, 1 Bassek 11:7 25Olowooza ggwe osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali awakanyeeko ne Isiraeri oba yali alwanyeeko nabo?#Kubal 22:2, Yos 24:9, Mi 6:5 26Isiraeri yamala emyaka bisatu (300) mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali g'omugga Alunoni; kale kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo?#Kubal 21:25, Ma 2:36 27Nze sikwonoonangako nakatono, naye ggwe onsosokereza okulwana nange; Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.”#Lub 16:5; 18:25; 31:53, 1 Sam 24:12,15 28Naye kabaka w'abaana ba Amoni n'atawulira bigambo bya Yefusa bye yamutumira.
29Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'atuuka mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, gye yava n'agenda eri abaana ba Amoni.#Balam 3:10, 1 Sam 11:6 30Yefusa ne yeeyama eri Mukama obweyamo n'agamba nti “Bwolimpa obuwanguzi eri abaana ba Amoni,#Lub 28:20, 1 Sam 1:11 31ne nkomawo emirembe, omuntu yenna alisooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana, ndimuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”#1 Sam 1:28, 2 Bassek 3:27, Zab 66:13, Mi 6:7 32Awo Yefusa n'agenda n'alwana n'abaana ba Amoni; Mukama n'abagabula mu mukono gwe. 33N'abakuba okuva ku Aloweri okutuuka ku miriraano gye Minnisi, bye bibuga abiri (20), n'okutuukira ddala ku Aberukeramimu, n'atta abantu bangi nnyo. Bwe batyo abaana ba Amoni bwe bawangulwa aba Isiraeri.
Muwala wa Yefusa
34Yefusa n'addayo e Mizupa mu makage, laba muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'akuba ebitaasa era nga bwazina; era ye yali omwana we omu yekka; teyalina mwana wa bulenzi newakubadde ow'obuwala omulala.#Lub 22:2, Kuv 15:20, Balam 10:17; 11:11, 1 Sam 18:6, Zab 68:25 35Awo olwatuuka Yefusa bwe yalaba muwalawe, n'ayuzaayuza engoye ze, n'agamba nti, “Zinsanze muwala wange, onnakuwazizza era onneeraliikiriza nnyo! kubanga nneyama obweyamo eri Mukama siyinza kubumenyawo.”#Lub 37:29, Kubal 30:2, Yob 1:20, Mub 5:4,5, Mat 5:33, Mak 6:26 36Muwalawe n'amugamba nti, “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, kale nkola ng'ekigambo ekyava mu kamwa ko bwe kyali; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” 37N'agamba kitaawe nti, “Nkusaba onkoleere kino kyokka; mpaayo emyezi ebiri, ŋŋende ne bannange ku nsozi nkungubagire eyo olw'okufa nga simanyi musajja.” 38Kitaawe n'amugamba nti, “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri, ye ne banne nga bali mu nsozi nga akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja. 39Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja.#Balam 11:31 40Eno ye yali entandikwa ye mpisa mu Isiraeri, abawala ba Isiraeri okugendanga buli mwaka ne bamala ennaku nnya nga bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi.

Attualmente Selezionati:

Ekyabalamuzi 11: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi