Ekyamateeka Olwokubiri 16:16
Ekyamateeka Olwokubiri 16:16 LBR
“Abasajja bonna ab'omu ggwanga lyammwe, banajjanga okusinza Mukama Katonda wammwe emirundi esatu mu mwaka: ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulusiddwa, ku mbaga eya Ssabbiiti Omusanvu, ne ku mbaga ey'Ensiisira, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era tebajjenga mu maaso ga Mukama nga tebalina kye baleese.


