Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyamateeka Olwokubiri 12

12
Ekitundu ekyokubiri eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku mateeka amalala n'ebiragiro
(12:1—26:19)
Ekifo ekitongole eky'okusinzizangamu
1Gano ge mateeka n'ebiragiro bye munaakwatanga mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa okutuulamu, ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu mu nsi.#Ma 4:10; 6:1, 1 Bassek 8:40 2Temulemanga kuzikiriza bifo byonna eby'amawanga ge mugenda okuwangula gye baweerereza bakatonda baabwe, ebiri ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi.#1 Bassek 14:23, 2 Bassek 16:4, Yer 3:6 3Munaamenyamenyanga ebyoto n'empagi zaabwe, era munaayokyanga n'ebifaananyi bya katonda waabwe Asera; munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; ne musangulira ddala amannya ga bakatonda abo, ne bataddamu ku sinzibwa mu bifo ebyo.#Kuv 23:13,24; 34:13, Ma 7:5, Balam 2:2, Zek 13:2 4Temusinzanga Mukama Katonda wammwe ng'abamawanga abo bwe basinza bakatonda baabwe. 5Naye mmwe munaasinzizanga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, n'akitongoza mu bika byammwe okusinzizangamu erinnya lye, eyo gye munaagendanga.#Ma 16:2; 26:2, Yos 9:27, 1 Bassek 8:29, 2 Byom 7:12,16 6Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo: ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, obweyamo, ne bye muwaayo ku bwammwe, ebibereberye by'ente zammwe n'eby'endiga zammwe.#Ma 14:22,23 7Era munaaliiranga mu kifo ekyo, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye mukoze n'emikono gyammwe, wamu n'ab'omu nnyumba zammwe, nga Mukama Katonda wammwe bw'abawadde omukisa.#Ma 14:23,26; 15:20 8Temukolanga ebyo byonna bye tukola wano kaakano; kubanga buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu mu maaso ge;#Balam 17:6 9kubanga temunnatuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa gye munaabeeranga mu mirembe. 10Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, anaabawonyanga eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga ne mutuula mirembe.#Ma 25:19 11Awo Mukama Katonda wammwe bw'alimala okweroboza ekifo eky'okutuuzaamu erinnya lye ne mulyoka mutwala eyo eby'okuwaayo byonna bye mbalagira: ebiweebwayo ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, n'obweyamo bwammwe bwonna eri Mukama.#Ma 12:5,6 12Munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna busika bwa ttaka nga mmwe.#Ma 10:9; 16:11,14 13Mwekuumenga muleme okuweerangayo mu buli kifo kye mulaba ebyo bye muwaayo ebyokebwa;#Leev 17:3,4 14naye munaabiweerangayo mu kifo kimu kyokka Mukama ky'alyeroboza okuva mu bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira. 15Naye munaayinzanga okutta ebisolo ne muliira ennyama yaabyo wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, nga Mukama bw'anaabanga abawadde omukisa. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaagiryangako nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.#Lub 9:3, Ma 15:22; 16:17 16Kyokka temulyanga ku musaayi; munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.#Lub 9:4, Leev 7:26; 17:10, 1 Sam 14:33,34, Bik 15:20,29 17Temuliiranga mu bifo gye munaabeeranga, ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano, eby'envinnyo, eby'amafuta ag'emizeyituni, eby'ebibereberye by'ente n'endiga, eby'ebintu byonna bye mweyama, eby'ebintu byonna bye muwaayo ku bwammwe n'ebyo ebisitulibwa n'emikono. 18Naye munaabiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abanaabeeranga mu bibuga byammwe. Munaasanyukiranga ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'abawadde mu mikono gyammwe.#Ma 14:23,26 19Mwekuumenga mulemenga okusuuliriranga Abaleevi ennaku zonna ze munaabeeranga abalamu mu nsi yammwe.#Ma 14:27
20“Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yabasuubiza, ne muyoya ennyama, munaagiryanga nga bwe munaayagalanga.#Lub 28:14, Kuv 34:24, Ma 19:8 21Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, bwe kinaabanga ewala, munattanga ku nte ne ku mbuzi zammwe, Mukama z'abawadde, ne muziriira gye munaabeeranga nga bwe munaayagalanga. 22Abatali balongoofu n'abalongoofu banaaziryangako kye nkanyi, ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa. 23Kyokka mwegendereze mulemenga okulya ku musaayi; kubanga mu musaayi mwe muli obulamu; tolyanga musaayi awamu n'ennyama.#Lub 9:4, Leev 17:11,14 24Temugulyanga, wabula munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.#Ma 12:16 25Bwe munaakwatanga ekiragiro ekyo, ne mutagulyako; abaana bammwe n'abazzukulu bammwe banaalabanga ebirungi.#Kuv 15:26, Ma 4:40; 13:18, 1 Bassek 11:38 26Byo ebintu ebitukuvu n'obweyamo eby'okuwangayo munaabitwalanga mu kifo ekyo Mukama ky'alyeroboza.#Kubal 5:9,10; 18:19, 1 Sam 1:21 27Munaaweerangayo eyo ku kyoto kya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo eby'okebwa, ennyama n'omusaayi. Omusaayi gwa ssaddaaka zammwe gunaayibwanga ku kyoto, nammwe munaalyanga ennyama.#Leev 1:3-9; 17:11 28Mukwatenga ebyo byonna bye mbalagira, mulyoke mulabenga ebirungi, mmwe n'abaana bammwe, n'abazzukulu bammwe, emirembe gyonna, bwemunaakolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi era eby'ensonga.”#Ma 12:25
Okulabula obutasinzanga bifaananyi
29“Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'agenda okubawa;#Ma 19:1, Zab 78:55 30amawanga ago bwe galimala okuzikirizibwa mu maaso gammwe, mwekuumenga mulemenga okugwa mu bikemo eby'okusinza ba katonda ab'amawanga ago, nga mwegomba okusinzanga bo.#Ma 6:14; 7:16 31Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe, nga mukola eby'omuzizo Mukama by'akyawa ebyakolebwanga ab'amawanga ago ne batuuka n'okuwaayo batabani baabwe ne bawala baabwe okubookya omuliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.#Leev 18:3; 26:30, Ma 7:25; 12:4 32Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga ne mukikola; temukyongerangako, era temukisalangako.”#Ma 4:2

Attualmente Selezionati:

Ekyamateeka Olwokubiri 12: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi