1
Okubala 22:28
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mukama n'ayasamya akamwa k'endogoyi, n'egamba Balamu nti, “Nkukoze ki ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule?”
Confronta
Esplora Okubala 22:28
2
Okubala 22:31
Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.
Esplora Okubala 22:31
3
Okubala 22:32
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza, kubanga sikukkirizza kutambula lugendo luno.
Esplora Okubala 22:32
4
Okubala 22:30
Endogoyi n'egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? Nali nkuyisizzaako bwe nti?” Balamu n'addamu nti, “Nedda.”
Esplora Okubala 22:30
5
Okubala 22:29
Balamu n'agamba endogoyi nti, “Kubanga onnyoomye; singa mbadde n'ekitala mu ngalo zange, kaakano nandikusse.”
Esplora Okubala 22:29
6
Okubala 22:27
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi nga Balamu agituddeko. Obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba nnyo endogoyi n'omuggo gwe.
Esplora Okubala 22:27