1
Okubala 21:8
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mukama n'agamba Musa nti, “Weekolere omusota ogw'ekikomo, oguteeke ku mulongooti; awo olunaatuuka, buli abojjeddwa bw'anagutunulako, anaawona.”
Confronta
Esplora Okubala 21:8
2
Okubala 21:9
Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti, awo olwatuuka omusota bwe gwabanga gubozze omuntu yenna, bwe yatunuuliranga omusota ogw'ekikomo, ng'awona.
Esplora Okubala 21:9
3
Okubala 21:5
Abantu ne beemulugunyiza Katonda ne Musa nga bagamba nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okutuleeta okufiira mu ddungu? Temuli mmere, so temuli mazzi; n'okwetamwa twetamiddwa eky'okulya kino ekyangu.”
Esplora Okubala 21:5
4
Okubala 21:6
Mukama n'asindikira abantu emisota egy'obusagwa, ne gibabojja; Abantu bangi ku Baisiraeri ne bafa.
Esplora Okubala 21:6
5
Okubala 21:7
Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti, “Twonoonye kubanga twemulugunyiza Mukama naawe; saba Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n'asabira abantu.
Esplora Okubala 21:7