Olubereberye 33
33
1 #
Lub 32:6
Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi. 2N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'aviisaako ennyuma Laakeeri ne Yusufu. 3#Lub 18:2; 42:6Naye ye yennyini n'akulembera mu maaso gaabwe, n'avuunama emirundi musanvu, okutuusa bwe yasemberera muganda we. 4#Lub 32:28; 45:14Esawu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga. 5#Lub 48:9, Zab 127:3, Is 8:18N'ayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa. 6Abazaana ne balyoka basembera, bo n'abaana baabwe, ne bavuunama. 7Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama: Yusufu ne Laakeeri ne balyoka basembera, ne bavuunama. 8#Lub 32:5,16N'ayogera nti Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo ki? N'ayogera nti Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange. 9Esawu n'ayogera nti Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo. 10#Lub 43:3, 2 Sam 14:24Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira. 11#1 Sam 25:27, 2 Bassek 5:15,23Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala. 12N'ayogera nti Tukwate ekkubo tugende, nange naakukulembera. 13N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byonna birifa. 14Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naagenda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri. 15#Luus 2:13Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange. 16Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo ng'agenda e Seyiri. 17Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo kyeriva liyitibwa Sukkosi.
18Yakobo n'atuuka mirembe mu kibuga kya Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, bwe yava mu Padanalaamu; n'asiisira mu maaso g'ekibuga. 19#Yos 24:32, Yok 4:5, Bik 7:16N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukono gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi. 20N'asimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.
Trenutno odabrano:
Olubereberye 33: LUG68
Istaknuto
Kopiraj
Usporedi
Podijeli
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.