Lukka 4:5-8

Lukka 4:5-8 LBR

Awo n'amulinnyisa, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono. Setaani n'amugamba nti, “ Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala. Kale nno bw'onoonsinza, buno bwonna bunaaba bubwo.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.”