Ebikolwa by'Abatume 16:27-28
Ebikolwa by'Abatume 16:27-28 LBR
Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye. Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti, “Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano.”


