1
Matayo 7:7
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo
Compara
Explorar Matayo 7:7
2
Matayo 7:8
kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo.
Explorar Matayo 7:8
3
Matayo 7:24
Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi
Explorar Matayo 7:24
4
Matayo 7:12
Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe bwe mutyo mubibakolenga; kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.
Explorar Matayo 7:12
5
Matayo 7:14
Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo zibu eridda mu bulamu, n'abo abaliraba batono.
Explorar Matayo 7:14
6
Matayo 7:13
Muyingire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo lyangu eridda mu kuzikirira, n'abo abaliyitamu bangi.
Explorar Matayo 7:13
7
Matayo 7:11
Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abo abamusaba?
Explorar Matayo 7:11
8
Matayo 7:1-2
“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa. Kubanga omusango nga bwemugusalira abalala, nammwe bwe gulibasalirwa, era ekigera kye mugereramu, ekyo nammwe kye muligererwamu.
Explorar Matayo 7:1-2
9
Matayo 7:26
Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu
Explorar Matayo 7:26
10
Matayo 7:3-4
Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba oligamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo; sso nga ku liiso lyo kuliko enjaliiro?
Explorar Matayo 7:3-4
11
Matayo 7:15-16
Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye nga munda gy'emisege egisikula. Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango?
Explorar Matayo 7:15-16
12
Matayo 7:17
Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi.
Explorar Matayo 7:17
13
Matayo 7:18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.
Explorar Matayo 7:18
14
Matayo 7:19
Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro.
Explorar Matayo 7:19