1
Matayo 22:37-39
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Yesu n'amuddamu nti, “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.
Compara
Explorar Matayo 22:37-39
2
Matayo 22:40
Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.”
Explorar Matayo 22:40
3
Matayo 22:14
Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.”
Explorar Matayo 22:14
4
Matayo 22:30
Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.
Explorar Matayo 22:30
5
Matayo 22:19-21
Mundage effeeza ey'omusolo.” Ne bamuleetera eddinaali. N'abagamba nti, “Ekifaananyi n'amannya ebiwandiikiddwako by'ani?” Ne bamugamba nti, “Bya Kayisaali.” Awo Yesu n'abagamba nti, “Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.”
Explorar Matayo 22:19-21