1
Matayo 10:16
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
“Laba, nze mbatuma nga muli ng'endiga wakati mu misege; kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa.
Compara
Explorar Matayo 10:16
2
Matayo 10:39
Alaba obulamu bwe alibubuza; n'oyo abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.”
Explorar Matayo 10:39
3
Matayo 10:28
So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; naye mumutyenga oyo ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Ggeyeena.
Explorar Matayo 10:28
4
Matayo 10:38
N'oyo atakwata musalaba gwe n'angoberera tansaanira.
Explorar Matayo 10:38
5
Matayo 10:32-33
“Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.”
Explorar Matayo 10:32-33
6
Matayo 10:8
Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni; mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.
Explorar Matayo 10:8
7
Matayo 10:31
Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.
Explorar Matayo 10:31
8
Matayo 10:34
“Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.
Explorar Matayo 10:34