Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okumuleetera ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebikulu, ne babisomera mu maaso ga kabaka. Awo ne basanga nga kyawandiikibwa nga Moluddekaayi bwe yabuulira kabaka olukwe olwakolebwa Bigusani ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abamu ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okutemula kabaka Akaswero.