Yokaana Ennyanjula

Ennyanjula
Yokaana yali muvubi, era yali omu ku bayigirizwa Yesu be yasooka okuyita okubeeranga naye. Enjiri eno Yokaana yagiwandiika nga wakati w’emyaka ad 85 ne 95. Entandikwa yaayo eyoleka nga Yesu bwe yaliwo okuva edda lyonna ng’ali ne Kitaawe; era eraga nga Yesu Kristo bw’ali Katonda yennyini eyafuuka omuntu alyoke atulokole ffenna. Eno y’Enjiri eyoleka okwagala kwa Katonda. Omulamwa gw’Enjiri eno kwe kukkiriza Yesu Kristo, awamu n’emikisa egy’emirembe n’emirembe gye tufuna olw’okukkiriza okwo. Mu Njiri eno mulimu ebyamagero Yesu bye yakola, era n’ebintu bingi bye yayigiriza, ebitasangibwa walala n’akatono. Era mulimu ekitundu ekiwanvu (Essuula 14–17) ekinnyonnyola okuyigiriza kwa Yesu eri Abatume be, bwe yali ng’asemberedde ekiseera kye eky’okufa. Yokaana yawandiika bingi mu Njiri eno, mu ngeri ey’enjawulo, ku mirundi Yesu gye yalabikira Abatume be ng’amaze okufa n’okuzuukira mu bafu.

醒目顯示

分享

複製

None

想在你所有裝置上儲存你的醒目顯示?註冊帳戶或登入