Yokaana 16
16
Yesu agenda mu maaso okwogera ku kyekiro eky'enkomerero
1 “Ebyo mbibabuulidde muleme okusittazibwanga. #
Yok 14:29
2Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda.#Yok 9:22, Mat 5:11; 24:9, Luk 6:22 3N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze.#Yok 15:21 4Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.”#Luk 22:53, Yok 17:12
Omulimu gw'Omwoyo Omutukuvu
5 “Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa? #
Yok 7:33
6Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.#Yok 14:16 8Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango;#1 Kol 14:24, Beb 4:12 9olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;#Yok 3:18, Bar 1:18 10olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate;#Bik 5:31, Bar 4:25 11olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango.#Yok 12:31; 14:30 12Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.#1 Kol 3:1 13Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.#Yok 14:26, 1 Yok 2:27 14Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. 15Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe.#Yok 17:10 16Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.”#Yok 14:19 17Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti, “Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?” 18Kyebaava bagamba nti, “Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba.” 19Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti, “Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba? 20Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka ssanyu. 21Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.#Is 26:17 22Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu aliribaggyako.#Is 66:14 23Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.#Yok 14:13; 14:20, 1 Yok 5:14, Mat 7:7, Mak 11:24 24Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.”#Yok 15:11
25 “ Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibabuulira ebya Kitange mu lwatu. #
Yok 10:6
26Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange; 27kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange.#Yok 14:21 28Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.” 29Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero.#Yok 16:25 30Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.#Yok 2:25 31Yesu n'abaddamu nti“ Kaakano mukkirizza? 32Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.#Zek 13:7, Mat 26:31,45, Mak 14:27,50, Yok 8:29 33Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.”
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.