1
Yokaana 19:30
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
对照
探索 Yokaana 19:30
2
Yokaana 19:28
Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta.
探索 Yokaana 19:28
3
Yokaana 19:26-27
Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo! Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
探索 Yokaana 19:26-27
4
Yokaana 19:33-34
naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu: naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
探索 Yokaana 19:33-34
5
Yokaana 19:36-37
Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba. Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita.
探索 Yokaana 19:36-37
6
Yokaana 19:17
n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa
探索 Yokaana 19:17
7
Yokaana 19:2
Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bamutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu
探索 Yokaana 19:2
主页
圣经
计划
视频