1
Abaruumi 12:2
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
Karşılaştır
Abaruumi 12:2 keşfedin
2
Abaruumi 12:1
Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.
Abaruumi 12:1 keşfedin
3
Abaruumi 12:12
nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
Abaruumi 12:12 keşfedin
4
Abaruumi 12:21
Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
Abaruumi 12:21 keşfedin
5
Abaruumi 12:10
nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa
Abaruumi 12:10 keşfedin
6
Abaruumi 12:9
Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi
Abaruumi 12:9 keşfedin
7
Abaruumi 12:18
Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna
Abaruumi 12:18 keşfedin
8
Abaruumi 12:19
abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
Abaruumi 12:19 keşfedin
9
Abaruumi 12:11
mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama
Abaruumi 12:11 keşfedin
10
Abaruumi 12:3
Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.
Abaruumi 12:3 keşfedin
11
Abaruumi 12:17
Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
Abaruumi 12:17 keşfedin
12
Abaruumi 12:16
Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
Abaruumi 12:16 keşfedin
13
Abaruumi 12:20
“Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”
Abaruumi 12:20 keşfedin
14
Abaruumi 12:14-15
Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
Abaruumi 12:14-15 keşfedin
15
Abaruumi 12:13
Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
Abaruumi 12:13 keşfedin
16
Abaruumi 12:4-5
Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
Abaruumi 12:4-5 keşfedin