Zekkaliya 12

12
Obubaka obwokubiri: Abantu n'abakulembeze (12:1—14:21)
1Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama ekikwata ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye,#Is 42:5; 48:13 2nti, “Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuyi zonna, era Yuda wamu ne Yerusaalemi birizingizibwa.#Is 51:17,22,23, Zek 14:14 3Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa.#Zek 14:2, Mat 21:44 4Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.#Ma 28:28, Zab 76:6, Ez 36:25 5N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti,‘ Abali mu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama w'eggye Katonda waabwe.’ 6Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro wakati mu kibira, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono, oliboolyawo Yerusaalemi kirisigalawo, mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.#Yer 5:14, Zek 2:4; 14:10,11 7Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda. 8Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe.#2 Sam 19:27 9Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi.#Zek 14:3 10Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita, era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.#Yer 6:26; 31:9; 50:4, Yok 19:37, Kub 1:7 11Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni#12:11 Kadadulimmoni lino nalyo lyali linnya lya Baali, katonda w'obugimu mu Kanani ne Bwasuli. mu kiwonvu Megiddoni.#2 Byom 35:22,24 12Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka;#2 Sam 5:14, Zek 7:3, Luk 3:31 13ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka;#Kubal 3:18 14ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka.”

Айни замон обунашуда:

Zekkaliya 12: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in