Zekkaliya 11

11
1Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni,
omuliro gwokye emivule#11:1 Emivule wano gikozesebwa ng'obubonero bwa mawanga ag'amaanyi oba ba kabaka baabwe. gyo.#Is 2:2,13
2Kuba ebiwoobe, ggwe omuberosi,
kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese,
mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani,
kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde.
3Wulira ebiwoobe by'abasumba!
kubanga obulungi bwabwe bwonoonese.
Eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento!
kubanga olusaalu lwa Yoludaani luzikiriziddwa.#Yer 25:34
4Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti, “Liisa ekisibo eky'okuttibwa; 5abo abazigula bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde; so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.#Ez 34:3, Kos 12:8 6Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we; nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.”#Yer 13:14 7Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, okusingira ddala ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Kisa; omulala ne ngutuuma, Kwegatta; ne ndiisa ekisibo. 8Ne neegobako abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange ng'ebakyaye era nga nabo nga bankyaye. 9Awo ne njogera nti, “Siibeere musumba wammwe, ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”#Yer 15:2 10Ne ntwala omuggo gwange oguyitibwa “Kisa,” ne ngumenya, ne menya endagaano gye nnali nkoze n'abantu bonna. 11Ne gumenyeka ku lunaku olwo, era abasuubuzi b'endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Mukama. 12Ne mbagamba nti, “Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo.” Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu (30) eby'effeeza.#Kuv 21:32, Mat 26:15; 27:9,10 13Mukama n'aŋŋamba nti, “Bisuulire omubumbi,” omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu (30) ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama. 14Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta,” okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isiraeri bukomye.
15Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru. 16Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alimmenyamenya ebinuulo byazo.”#Ez 34:3,4, Yok 10:13
17“Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa
aleka ekisibo!
ekitala kifumite mukono gwe
ne ku liiso lye erya ddyo;
omukono gwe gukalire ddala,
n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala.”#Yer 23:1, Yok 10:12

Айни замон обунашуда:

Zekkaliya 11: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in