Makko 4

4
Olugero lw'Omusizi
(Mat 13:1-23, Luk 8:4-15)
1Ate n'atandika okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, kyeyava alinnya mu lyato, n'atuula mu lyo ku nnyanja, kyo ekibiina ne kibeera ku lubalama lwe nnyanja. #Mat 13:1-23, Luk 8:4-15 2N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti, 3“Muwulire; omusizi yafuluma okusiga: 4awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5N'endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi; amangwago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu: 6enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. 7Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala. 8Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi.” 9N'agamba nti, “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
10Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo. 11N'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda, naye bali ab'ebweru byonna bibabeerera mu ngero:#1 Kol 5:12 12Babe nga balaba naye nga tebeteegereza, babe nga bawulira naye nga tebategeera; sikulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.” #Is 6:9,10, Yok 12:40, Bik 28:26 13N'abagamba nti, “Temutegeera lugero luno? Kale mulitegeera mutya engero zonna? 14Omusizi asiga kigambo. 15Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangwago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo. 16Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali olwazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangwago bakikkiriza n'essanyu; 17ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangwago nga bagwa. 18N'abalala be bali abasigibwa mu amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo, 19awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala. #Mak 10:23,24 20N'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala asatu (30), n'enkaaga (60), n'ekikumi (100).”
Olugero lw'ettaala
(Luk 8:16-18)
21N'abagamba nti, “Ettaala ereetebwa okuteekebwa munda mu kibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo?#Mat 5:15 22Kubanga tewali ekikwekebwa, ekitalimanyibwa, oba ekikisibwa, ekitalirabika mu lwatu.#Mat 10:26, Luk 12:2 23Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.” 24N'abagamba nti, “Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako.#Mat 7:2 25Kubanga alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo kyali nakyo.”#Mat 13:12
Olugero lw'ensigo ekula
26N'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka; 27ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse.#Yak 5:7 28Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba. 29Naye emmere bw'eyengera, amangwago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.”#Yo 3:13
Olugero lwa kaweke ka Kaladaali
(Mat 13:31-35)
30N'agamba nti, “Kiki kye tunaageraageranya n'obwakabaka bwa Katonda? Oba tukozesa lugero ki okubunnyonnyola?#Mat 13:31,32,34, Luk 13:18,19 31Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi, 32naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; ennyonyi ez'omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”#Dan 4:12,21, Ez 17:23; 31:6
33N'abagamba ekigambo mu ngero nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira; 34teyayogera nabo awatali lugero, naye bwe yaba nga yekka n'abayigirizwa be n'abannyonnyola byonna.
Yesu akkakkanya omuyaga
(Mat 8:23-27, Luk 8:22-25)
35Awo ku lunaku olwo bwe bwali buwungedde, n'abagamba nti, “Tuwunguke tutuuke emitala eri.”#Mat 8:18,23-27, Luk 8:22-25 36Abayigirizwa ne baleka ekibiina, ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye nga bwe yali. Era n'amaato amalala gaali naye. 37Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato ne litandika okujjula amazzi. 38Yesu ye yali mabega mu lyato nga yeebase ku mutto, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tofaayo nga tufa?” 39N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti, “Sirika, teeka.” Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo. 40N'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza?” 41Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Kale ono ye ani, omuyaga n'ennyanja gwe bigondera?”

Айни замон обунашуда:

Makko 4: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy