Makko 2

2
Yesu awonya omuntu eyali akoozimbye
(Mat 9:1-8, Luk 5:17-26)
1Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.#Mat 9:1-8, Luk 5:17-26 2Ne bakuŋŋaana bangi, ne wataba na kifo we bagya newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo. 3Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse abasajja bana. 4Naye bwe baalemwa okumuyingiza olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali; ne bawummulawo ekituli ne bassa ekitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
5Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti, “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 6Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde ne balowooza mu mitima gyabwe 7nti, “Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?”#Is 43:25 8Amangwago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga be buuzaganya bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti, “Lwaki mwebuuzaganya bwe mutyo mu mitima gyammwe? 9Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti, Ebibi byo bikusonyiyiddwa oba okugamba nti, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule? 10Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi,” n'agamba eyali akoozimbye nti, 11“Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.” 12N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.”
Yesu ayita Leevi
(Mat 9:9-13, Luk 5:27-32)
13Awo Yesu n'agenda nate ku lubalama lw'ennyanja; ekibiina ky'abantu ne kijja w'ali, n'abayigiriza.#Mat 9:9-13, Luk 5:27-32 14Awo bwe yali ng'atambula ku lubalama, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde we yasoloolezanga omusolo, n'amugamba nti, “ Ngoberera.” N'agolokoka n'amugoberera.#Yok 1:43 15Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba ya Leevi ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi baali batudde ne Yesu n'abayigirizwa be: kubanga bangi abaali bamugoberedde. 16Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba Yesu ng'aliira wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “ Lwaki aliira wamu n'abawooza n'abalina ebibi?” 17Awo Yesu bwe yakiwulira n'abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Yesu bamubuuza ku kusiiba
(Mat 9:14-17, Luk 5:33-39)
18Awo abayigirizwa ba Yokaana n'ab'Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo basiiba, naye nga abayigirizwa bo tebasiiba?”#Mat 9:14-17, Luk 5:33-38 19Yesu n'abagamba nti, “Abagenyi ba wasizza omugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? Bwe baba nga bakyali n'awasizza omugole, tebayinza kusiiba. 20Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba ku lunaku olwo. 21Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bw'akola bwatyo ekiwero ekiggya kikutula ekikadde, ekituli ne kyeyongera. 22Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge guyiika n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.”
Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti
(Mat 12:1-8, Luk 6:1-5)
23Awo lumu ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ayita mu nnimiro, abayigirizwa be ne batandika okugenda nga banoga ebirimba.#Mat 12:1-8, Luk 6:1-5 24Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Laba, Lwaki bakola ekyo ekitakkirizibwa ku lunaku lwa ssabbiiti?”
25Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo? 26Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?”#1 Sam 21:1-6, Leev 24:5-9 27N'abagamba nti, “Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti.#Ma 5:14 28Bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.”

Айни замон обунашуда:

Makko 2: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy