Matayo 20

20
Olugero lw'abakozi mu nnimiro y'emizabbibu
1 “Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu. # Mat 21:33 2Bwe yamala okulagaana n'abalimi okubasasula eddinaali emu#20:2 Eddinaali emu yalinga empeera y'omupakasi ey'olunaku. olunaku, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 3N'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola; 4nabo n'abagamba nti, Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabasasula ekinaabasanira.” Ne bagenda. 5N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era ne ku ssaawa mwenda, n'akola bw'atyo. 6Era n'afuluma ku ssaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti, “Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola?” 7“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tewali muntu eyatupakasizza.’ N'abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu.’ 8Obudde bwe bwawungeera, nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba omusajja we alabirira abakozi nti, ‘Bayite abalimi, obawe empeera, ng'osookera ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.’ 9Abo abaapangisibwa ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. 10Abo abaasooka okupangisibwa bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okusingawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. 11Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza nnannyini lusuku, 12nga bagamba nti, ‘Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obenkanya naffe, abaateganye okuva enkya nga n'essana litwokya?’ 13Naye ye n'addamu n'agamba omu ku abo nti, ‘Munnange, sikukoze bubi; tewalagaanye nange eddinaali emu? 14Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe. 15Siyinza kukola byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya olw'obugabi bwange?’ #Bar 9:16,21, Mat 6:23 16Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma.”#Mat 19:30
Yesu ayogera omulundi ogwokusatu ku kuttibwa kwe
(Mak 10:32-34, Luk 18:31-34)
17Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama (12), n'abagambira mu kkubo nti, #Mak 10:32-34, Luk 18:31-33 18“Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta,#Mat 16:21; 17:22,23 19era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera, kyokka alizuukizibwa ku lunaku olwokusatu.” 20#Mak 10:35-45Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'abaako ky'amusaba.#Mat 10:2 21Yesu n'amugamba nti, “Oyagala ki?” N'amuddamu nti, “Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.”#Mat 19:28 22Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamugamba nti, “Tuyinza.”#Mat 26:39, Yok 18:11 23Yesu n'abagamba nti, “Ku kikompe kyange mulinywerako ddala; naye eky'okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula kiweebwa abo Kitange be yakuterekera.” 24Na bali ekkumi (10) bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri.#Luk 22:24-26 25Naye Yesu n'abayita bonna gy'ali, n'agamba nti, “Mumanyi ng'abafuzi b'amawanga babafuga, era abakulu baabwe babatwala n'amaanyi. 26Naye tekiibenga bwe kityo mu mmwe; naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe;#Mat 23:11 27na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe;#Mak 9:35 28nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okuba ekinunulo eky'abangi.”#Luk 22:27, Baf 2:7, 1 Tim 2:6
Yesu awonya bamuzibe babiri
(Mak 10:46-52, Luk 18:35-43)
29Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera.#Mak 10:46-52, Luk 18:35-43 30Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.”#Mat 15:22 31Ekibiina ne kibaboggolera, nga kibagamba okusirika; naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.” 32Awo Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti, “Mwagala mbakolere ki?” 33Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke.” 34Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe, amangwago ne balaba, ne bamugoberera.

Айни замон обунашуда:

Matayo 20: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy