Matayo 19

19
Yesu ayogera ku kugobwa kw'omukazi omufumbo
(Mak 10:1-12)
1 # Mak 10:1-12 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ava e Ggaliraaya, n'agenda mu kitundu ky'e Buyudaaya, emitala wa Yoludaani;#Mat 7:28; 11:1; 13:53; 26:1 2ebibiina ebinene ne bimugoberera; n'abawonyeza eyo.
3Abafalisaayo ne bajja gy'ali, ne bamukema, nga bagamba nti, “Omuntu ayinza okugoba mukazi we ng'amulanga buli kigambo?”#Mat 5:31,32 4Yesu n'abaddamu nti, “Temusomangako nti oyo eyabatonda olubereberye nga yatonda omusajja n'omukazi, #Lub 1:27 5n'agamba nti, ‘Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?’#Lub 2:24, Bef 5:31 6Olwo nga tebakyali babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawukanyanga.” #1 Kol 7:10,11 7Abafalisaayo ne bamubuuza nti, “Kale, lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?”#Ma 24:1 8Yesu n'abaddamu nti, “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe, naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo. 9Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula nga amulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze, n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.”#Luk 16:18 10Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Ebigambo eby'omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo, si kirungi kuwasa.” 11Yesu n'abagamba nti, “Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abo abakiweebwa Katonda.#1 Kol 7:7,17 12Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu, waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukikkiriza, akikkirize.”
Yesu awa abaana abato omukisa
(Mak 10:13-16, Luk 18:15-17)
13Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, abasabire: naye abayigirizwa ne babajunga ababaleeta. #Mak 10:13-16, Luk 18:15-17 14Naye Yesu n'agamba nti, “Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi; kubanga abali ng'abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.”#Mat 18:2,3 15N'abassaako emikono, n'avaayo.
Yesu alaga engeri yokufuna obulamu obutaggwaawo
(Mak 10:17-31, Luk 18:18-30)
16Laba, omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?”#Mak 10:17-31, Luk 18:18-30 17Yesu n'amuddamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa eby'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu, naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.”#Luk 10:26-28 18N'amubuuza nti, “Galuwa?” Yesu n'addamu nti, “Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga,#Kuv 20:13-16, Ma 5:17-20 19Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko, era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”#Kuv 20:12, Leev 19:18, Ma 5:16 20Omulenzi n'agamba Yesu nti, “Ebyo byonna nnabikwata, ekimpeebuuseeko ki ate?” 21Yesu n'amugamba nti, “Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo byonna, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu, olyoke ojje, ongoberere.”#Mat 6:20, Luk 12:33 22Omulenzi bwe yawulira ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina obugagga bungi.#Zab 62:10
23Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu. 24Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 25Abayigirizwa bwe baawulira ne beewuunya nnyo, ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?” 26Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti, “Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.”#Lub 18:14, Yob 42:2, Zek 8:6 27Awo Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tulifuna ki?” 28Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri (12), nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri.#Luk 22:30, Dan 7:9,10 29Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi (100), era alisikira n'obulamu obutaggwaawo.#Beb 10:34 30Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.”#Mat 20:16, Luk 13:30

Айни замон обунашуда:

Matayo 19: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy